LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 5/06 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Subheadings
  • Wiiki Etandika Maayi 8
  • Wiiki Etandika Maayi 15
  • Wiiki Etandika Maayi 22
  • Wiiki Etandika Maayi 29
  • Wiiki Etandika Jjuuni 5
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 5/06 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Maayi 8

Oluyimba 92

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri gye tuyinza okugabamu Watchtower eya Apuli 15 ne Awake! eya Apuli. Mu kimu ku byokulabirako, omubuulizi alina omuntu gw’atwalira magazini buli lwe zijja naye ng’omuntu oyo teyafuna Watchtower eya Apuli 1, alage engeri y’okugabamu Watchtower eyo amuweereko n’eya Apuli 15 ne Awake! eya Apuli. Magazini ezo essatu bwe ziba zigabibwa, emu yokka y’erina okwogerwako. Abo abafuna magazini buli lwe zijja, ababuulizi bayinza okuzibatwalira omulundi gumu oba ebiri buli mwezi.

Ddak. 20: “Mungobererenga.”a Mu bimpimpi buuza ebibuuzo omubuulizi assaawo ekyokulabirako ekirungi ng’afuba obutakalubya bulamu bwe era ng’alina bye yeerekereza asobole okukola ekisingawo mu mirimu gy’Obwakabaka ne mu kuweereza abalala. Musabe anokoleyo ku mikisa gy’afuna olw’okukola bw’atyo.

Ddak. 15: Ebyokulabirako okuva mu kitundu. Saba abawuliriza boogere ku birungi bye baafuna bwe beenyigira mu buweereza mu mwezi gwa Maaki ne Apuli. Nokolayo ebirungi ebyava mu kufuna abayizi ba Baibuli era n’okuyamba abappya okubeerawo ku Kijjukizo. Ekyokulabirako kimu oba bibiri ebirungi biyinza okulagibwa ddala nga bwe byali.

Oluyimba 81 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Maayi 15

Oluyimba 95

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Bonna bakubirize okulaba vidiyo eyitibwa Noah​—He Walked With God. Vidiyo gye zitali, bonna bakubirize okusoma Olubereberye ssuula 6 okutuuka ku 9 nga beeteekerateekera Olukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki etandika nga Maayi 29.

Ddak. 10: Okukola nga Tuli Bumu nga Tukulemberwa Kristo. Okwogera okwesigamiziddwa ku ebyo ebiri wansi w’omutwe “Kye Kitegeeza Okutegeera Ekifo Kye” oguli ku lupapula 13-15 mu katabo Organized to Do Jehováh’s Will.

Ddak. 25: “Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka​—Mulimu Mukulu Nnyo mu Buweereza Obutukuvu.”b Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, balage foomu eyitibwa Application for Kingdom Hall Construction Volunteer Program (A-25) era obategeeze engeri y’okugifunamu. Buuza ebibuuzo abamu ku baali benyigiddeko mu mulimu gw’okuzimba oba okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka.

Oluyimba 55 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Maayi 22

Oluyimba 39

Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Soma lipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Maayi 1 ne Awake! eya Maayi. Ekyokulabirako kino kiyinza okulagibwa ng’amaka geegezaamu engeri y’okugabamu magazini ezo.

Ddak. 15: “Faayo ku Bantu​—ng’Obalaga Ekisa.”c Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, yogera mu bimpimpi ku kasanduuko akalina omutwe “Kiki ky’Ogamba ku Kyuma Ekyanukula ku Ssimu?” akali ku lupapula 2 mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2000.

Ddak. 18: Endabika Ennungi. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamizibwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu olupapula 131-3. Mukubaganye ebirowoozo ku misingi ettaano egiweereddwa egikwata ku nnyambala n’okwekolako. Bategeeze nti mu ngeri ey’amagezi, tusobola okukozesa emisingi egyo okuyamba abayizi ba Baibuli okutegeera engeri gye basaanidde okwambalamu nga bagenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina.

Oluyimba 96 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Maayi 29

Oluyimba 18

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe eza Maayi. Amawulire ga Teyokulase.

Ddak. 10: Tujja kugaba ekitabo Teacher mu mwezi gwa Jjuuni. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 3 ne 4 mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2005 oba ennyanjula endala etuukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu ekitabo Learn From the Great Teacher. Ebiseera bwe biba bimala, saba abawuliriza boogere ku birungi ebyava mu kukozesa ekitabo ekyo mu buweereza oba mu maka gaabwe.

Ddak. 25: “Ekyokulabirako eri Abakulu n’Abato.” Oluvannyuma lw’ennyanjula etasukka ddakiika, tandika okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ku vidiyo eya Noah, ng’okozesa ebibuuzo byonna ebiri mu katundu ak’okubiri. Vidiyo gye zitali, muddemu ebibuuzo ebyo nga mukozese ebyawandiikibwa ebisangibwa mu Olubereberye essuula 6 okutuuka ku 9. Oluvannyuma saba amaka googere ku ngeri gye gaganyuddwa mu kukubaganya ebirowoozo ku kyokulabirako kya Nuuwa. Ebyo nga biwedde, mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo n’ebyawandiikibwa ebiri mu katundu ak’okusatu.

Oluyimba 47 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjuuni 5

Oluyimba 55

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina.

Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.

Ddak. 20: Engeri y’Okuddiŋŋanamu Abantu. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kasanduuko akali mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 1, 2003, olupapula 14. Yogera ku nsonga zonna omusanvu eziweereddwa, era osabe abawuliriza boogere ku ngeri gye musobola okuzissa mu nkola mu kitundu kyammwe. Kubiriza ababuulizi okuddayo eri abo bonna abaakkiriza ebitabo byaffe oba abaagala okumanya ebisingawo, nga balina ekiruubirirwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Ng’okozesa ekimu ku birowoozo ebiri ku lupapula 6 mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2006, laga engeri y’okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli ng’ozzeeyo okumukyalira.

Oluyimba 27 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share