Engeri gy’Osobola Okutuuka ku Biruubirirwa byo eby’Eby’Omwoyo
1. Biruubirirwa ki abavubuka bangi Abakristaayo bye balina?
1 Awatali kubuusabuusa, ng’omuvubuka Omukristaayo olina ebiruubirirwa ebiraga nti oyagala Yakuwa era nga bituukana n’ebigambo bya Yesu eri Abakristaayo bonna ebigamba nti ‘musooke munoonye obwakabaka.’ (Mat. 6:33) Oyinza okuba ng’oyagala kuweereza nga payoniya, oba okuweereza mu kitundu obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka gye busingako. Abamu bayinza okuba n’ekirowoozo eky’okukola nga bannakyewa mu mulimu gw’okuzimba ogukolebwa mu nsi yonna, okuweereza ku ofiisi y’ettabi, oba okuweereza ng’omuminsani. Bino byonna biruubirirwa birungi.
2. Kiki ekiyinza okukuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo eby’eby’omwoyo?
2 Ekijja okukuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo, kwe kubaako w’obiwandiika. Watchtower eya Jjulaayi 15, 2004 yagamba nti: “Ekintu ky’obadde olowoozaako obulowooza, bw’okiteeka mu buwandiike kitandika okulabika nga kisoboka okukoleka. N’olwekyo, teeka ebiruubirirwa byo n’engeri gy’onoobituukirizaamu mu buwandiike.” Bwe weeteerawo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako amangu, kijja kukuyamba okutuuka ku biruubirirwa eby’omu maaso.
3. Biruubirirwa ki ebituukibwako amangu ebiyinza okukuyamba okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa?
3 Ebiruubirirwa Ebituukibwako Amangu: Bw’oba tonnabatizibwa, lowooza ku ky’oyinza okukola okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. Kiyinza okukwetaagisa okutegeera obulungi enjigiriza za Baibuli ezisookerwako. Bwe kiba bwe kityo, kifuule kiruubirirwa kyo okwekenneenya akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza, ng’okebera ebyawandiikibwa byonna ebiragiddwa. (1 Tim. 4:15) Weeteerewo ekiruubirirwa eky’okusoma Baibuli okuva ku Olubereberye okutuuka ku Okubikkulirwa, nga bwe kyetaagisibwa Ababeseri n’abo abagenda mu ssomero lya Giriyaadi. Ekyo bw’omala okukituukako, ssaawo enteekateeka ey’okusoma Baibuli buli lunaku. (Zab. 1:2, 3) Kino kijja kukuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo! Buli lw’oba ogenda okusoma Baibuli tandika era ofundikire n’okusaba, era bulijjo fuba okussa mu nkola by’oyiga.—Yak. 1:25.
4. Omukristaayo ayagala okuweereza mu Beseri oba ng’omuminsani, ayinza kusooka na biruubirirwa ki?
4 Bw’oba wamala okubatizibwa, biruubirirwa ki by’osobola okweteerawo? Weetaaga okulongoosa mu ngeri gy’obuuliramu? Ng’ekyokulabirako, kikwetaagisa okwongera ku bumanyirivu bwo mu ngeri gy’okozesaamu Ekigambo kya Katonda mu buweereza bw’ennimiro? (2 Tim. 2:15) Oyinza otya okugaziya ku buweereza bwo? Weeteerewo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako amangu nga bituukana n’emyaka gyo, embeera yo, era nga bijja kukuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo eby’omu maaso.
5. Okweteerawo ebiruubirirwa ebituukibwako amangu kyayamba kitya ow’oluganda okutuuka ku kiruubirirwa kye eky’okuweereza ku Beseri?
5 Yatuuka ku Kiruubirirwa Kye: Tony bwe yakyalira ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa nga wa myaka 19, yafuna ekirowoozo eky’okuweereza mu Beseri. Kyokka, yali aky’alina emize emibi era nga tannaba na kwewaayo eri Katonda. Tony yasalawo okutuukanya obulamu bwe n’emitindo gya Yakuwa era yeeteerawo ekiruubirirwa eky’okubatizibwa. Oluvannyuma lw’okubatizibwa, yeeteerawo ekiruubirirwa eky’okuweereza nga payoniya omuwagizi n’oluvannyuma nga payoniya owa bulijjo, era n’awandiika ku kalenda ye ennaku z’omwezi lw’ayagala okutuuka ku biruubirirwa ebyo. Teebereza essanyu lye yafuna bwe yayitibwa okuweereza ku Beseri oluvannyuma lw’okumala ekiseera ng’akola nga payoniya owa bulijjo!
6. Kiki ekisobola okukuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo eby’eby’omwoyo?
6 Naawe oyinza okutuuka ku biruubirirwa byo eby’eby’omwoyo, singa okulembeza eby’Obwakabaka. “Emirimu gyo” gitegeeze Yakuwa mu kusaba era ofube okutuuka ku biruubirirwa byo.—Nge. 16:3; 21:5.