Koppa ‘Katonda Waffe Omusanyufu,’ Yakuwa
1 Mu butuufu, Yakuwa ayagala abantu babeere basanyufu. Ekigambo kye kituleetera okwesunga emikisa egy’ekitalo gy’ateekeddeteekedde abantu. (Is. 65:21-25) Abantu balina okukirabirawo nti okubuulira ‘enjiri ey’ekitiibwa eya Katonda omusanyufu’ kutuwa essanyu. (1 Tim. 1:11, NW) Engeri gye tubuuliramu obubaka bw’Obwakabaka esaanidde okulaga nti twagala amazima era nti tufaayo nnyo ku bantu be tubuulira.—Bar. 1:14-16.
2 Ekituufu kiri nti, ebiseera ebimu kiyinza okuba ekizibu okusigala nga tuli basanyufu. Mu bitundu ebimu gye tubuulira, tusangamu abantu batono abawuliriza obubaka bw’Obwakabaka. Ennaku ezimu tuyinza okuba nga twolekagana n’embeera enzibu mu bulamu. Okusobola okusigala nga tuli basanyufu, kikulu okukijjukira nti abantu b’omu kitundu kyaffe beetaaga okuwulira n’okutegeera amawulire amalungi ag’Obwakabaka ge tubuulira. (Bar. 10:13, 14, 17) Kino bwe tukifumiitirizaako kijja kutuyamba okusigala nga tuli basanyufu nga tubuulira abalala ku nteekateeka Yakuwa z’akoze okutununula.
3 Yogera ku Bintu Ebizzaamu Amaanyi: Twetaaga okufaayo ku bye twogera. Wadde nga tuyinza okutandika nga twogera ku bizibu oba ku mawulire agawuniikirizza abantu, tusaanidde okwewala okwogera ennyo ku bintu ebyeraliikiriza. Omulimu gwaffe gwa kubuulira ‘amawulire amalungi ag’ebintu ebirungi.’ (Is. 52:7; Bar. 10:15) Amawulire amalungi gano bubaka obwesigamye ku bisuubizo bya Katonda eby’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. (2 Peet. 3:13) N’olw’ensonga eyo, kozesa Ebyawandiikibwa “okusiba abalina emitima egimenyese.” (Is. 61:1, 2) Kino kijja kuyamba buli omu ku ffe okusigala nga musanyufu n’obutaggwaamu maanyi.
4 Abantu balina okukirabirawo nti tuli basanyufu bwe tuba tubuulira. N’olwekyo, ka twolekenga engeri eno eya ‘Katonda waffe omusanyufu,’ nga tubuulira abantu ab’omu kitundu kyaffe amawulire amalungi ag’Obwakabaka.