Programu Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Noovemba 13
Oluyimba 65
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 8 oba endala ezituukana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugaba Watchtower eya Okitobba 15 ne Awake! eya Okitobba. Mu kimu ku byokulabirako, laga engeri y’okukwatamu omuntu agamba nti “Nze mwambuulirako dda.”—Laba akatabo Reasoning, lup. 20.
Ddak. 20: Ababuulizi b’Amawulire Amalungi. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamizibwa ku katabo Organized to Do Jehovah’s Will, olupapula 77 okutuuka ku mutwe omutono ku lupapula 83.
Ddak. 15: “Tube Bavumu, Naye nga Tuli ba Mirembe.”a Yogera n’ebyo ebiri mu kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 252-3, wansi w’omutwe omutono, “Lwe Kyetaagisa Obutakalambira ku Nsonga.”
Oluyimba 71 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Noovemba 20
Oluyimba 54
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.
Ddak. 25: Okugondera Ekiragiro kya Katonda eky’Okwewala Omusaayi. Kwogera kw’omukadde, ng’akozesa ekiwandiiko ekivudde ku ofiisi y’ettabi. Ng’otandika bagambe nti kaadi eziyitibwa DPA si zakujjuzibwamu leero. Bw’oba osoma ekiwandiiko ekyo, osobola okubaako by’oyogera mu bumpimpi okukaatiriza ensonga enkulu naye toteekwa kwongeramu byakulabirako oba ebyawandiikibwa birala. Ebyawandiikibwa ebiweereddwa osobola okubisoma oba okubyogerako ebiseera bwe biba bikusobozesa. Buli lw’otuuka we kisaanira, yogera ku ebyo ebiri mu kasanduuko “Kaadi Empya Eneetuyamba Okwewala Omusaayi.” Omuwandiisi asaanidde okuwa ababuulizi bonna ababatize kaadi eziyitibwa DPA n’olupapula okuli “Obulagirizi bw’Okujjuzaamu Kaadi eyitibwa DPA” kibasobozese okugoberera ng’okubiriza ekitundu kino. Omuwandiisi era asaanidde okukakasa nti waliwo Identity Cards ezimala.
Ddak. 15: Okugaba ekitabo Greatest Man mu Ddesemba. Kukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Saba abawuliriza boogere ku birungi ebiri mu kitabo Greatest Man n’ebyokulabirako ebirungi bye baafuna nga bakigaba. Mwogere ku nnyanjula eziri ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2005. Laga ekyokulabirako ku ngeri y’okugaba ekitabo ekyo ng’okozesa emu ku nnyanjula ezo oba endala etuukana n’ekitundu kyammwe.
Oluyimba 44 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Noovemba 27
Oluyimba 23
Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka.
Ddak. 10: Okukolera Awamu mu Kuzimba Okuweesa Katonda Ettendo. Kwogera kw’omukadde nga kwesigamye ku Watchtower eya Noovemba 1, 2006, olupapula 17-21.
Ddak. 15: “Engeri y’Okuteekateeka Okugaba Magazini.”b Saba ababuulizi babiri, oboolyawo nga mwami na mukyala, balage ekyokulabirako kya ddakiika ssatu nga balonda emu ku nnyanjula eziri ku lupapula 8, era balage n’engeri gye bajja okugikozesa mu bigambo byabwe. Nga bakozesa amagezi agali mu kitundu ekyekenneenyezebwa, balaga ekyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini y’emu nga bakozesa ekitundu ekirala kye balabye nga kijja kusikiriza abantu b’omu kitundu kyabwe.
Ddak. 15: “Ntwala Ntya Obutundutundu Obuggiddwa mu Musaayi n’Enzijanjaba Ezizingiramu Okukozesa Omusaayi Gwange?”cKubaganya ebirowoozo ng’okozesa ebibuuzo n’okulaga ekyokulabirako. Omukadde akubiriza ekitundu kino alina okugoberera n’obwegendereza ekiwandiiko ekivudde ku ttabi.
Oluyimba 45 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ddesemba 4
Oluyimba 66
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe eza Noovemba.
Ddak. 15: “Okubikkulirwa—Okutuukirizibwa kw’Ebikirimu Kunaatera Okutuuka ku Ntikko!”d Kubiriza ekibiina okukozesa obulungi obusanduuko n’ebifaananyi ebiri mu kitabo kino. Ku buli nkomerero y’okusoma, mukozese Baibuli okwejjukanya ebikulu ebibaddemu.
Ddak. 20: Kozesa Baibuli ng’Oddamu Ebibuuzo. Kukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamye ku Omunaala gw’Omukuumi, Ssebutemba 1, 2002, olupapula 13-14, wansi w’omutwe omutono “Okulaga nti Twagala Amazima ge Tuyigiriza.” Saba abawuliriza baddemu ebibuuzo byonna. Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi akatabo Reasoning okuddamu mukozi munne amubuuzizza nti “Lwaki Temukuza Ssekukkulu?”
Oluyimba 74 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
d By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.