Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2007, “Goberera Kristo!”
1, 2. (a) Musa yakubiriza atya Abaisiraeri okuganyulwa mu kukuŋŋaana awamu? (b) Nteekateeka ki ze twetaaga okutandika okukola kati?
1 Musa yalagira Abaisiraeri bonna ne bannaggwanga okukuŋŋaananga awamu buli luvannyuma lw’emyaka musanvu okusobola okusomerwa Amateeka. Lwaki baalina okusomerwa amateeka ago? “Bawulire, era bayige.” (Ma. 31:10-12) Yakuwa yalaba nga kyetaagisa okukuŋŋaanyanga abantu be mu bibinja ebinene. Mu kiseera ekitali kya wala, abantu ba Yakuwa bajja kuba wamu nate mu Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’ennaku essatu olulina omutwe “Goberera Kristo!”
2 Otandise okulweteekerateekera? Kikwetaagisa okusaba oyo akukozesa okukuwa olukusa oleme kukola ennaku ezo? Osobola okuyamba abayizi bo aba Baibuli oba ab’omu maka go abatali bakkiriza okubeerawo naawe mu lukuŋŋaana olwo? Waliwo abalala mu kibiina kyo abeetaaga okuyambibwa okusobola okubeerawo mu lukuŋŋaana olwo? Oteekateeka okugenda mu lukuŋŋaana olulala olutali olwo ekibiina kyammwe lwe kirina okugendamu? Oneetaaga aw’okusula? Ebyo ebikuweereddwa wammanga bijja kukuyamba okwetegeka.
3. (a) Isaaya 25:6 lutuukirizibwa lutya leero? (b) Kiki kye tutera okulaba ku bikwata ku bungi bw’abantu ababeerawo ku lukuŋŋaana olunene ku Lwokutaano, era buli omu ku ffe asaanidde kukola ki?
3 Beerawo Ennaku Zonna Essatu: Yakuwa awa abantu be emmere nnyingi ey’eby’omwoyo. (Is. 25:6) Emmere eno ezingiramu ekijjulo eky’eby’omwoyo ekituweebwa mu nkuŋŋaana zaffe ennene eza buli mwaka. Kirabiddwa nti abantu ababeerawo ku Lwakutaano baba batono nnyo bw’obageraageranya n’abo ababaawo mu nnaku endala ez’olukuŋŋaana. Kifuule kiruubirirwa kyo okubeerawo ennaku zonna esatu ez’olukuŋŋaana olututegekeddwa ekibiina kya Yakuwa! Bw’oba nga weetaaga okusaba olukusa okuva eri oyo akukozesa oleme okukola mu nnaku ezo, ensonga eyo giteeke mu kusaba kwo eri Katonda. Oluvannyuma ‘funa obuvumu’ oyogere n’oyo akukozesa amangu ddala nga mwakategeezebwa olunaku olukuŋŋaana olwo we lunaabeererawo. (1 Bas. 2:2; Nek. 2:4, 5) Kiyinza okuba eky’omuganyulo okumutegeeza nti enkuŋŋaana ennene eza buli mwaka kitundu kya kusinza kwo. Kino bw’okikola nga bukyali, kiyinza okukifuula ekyangu eri oyo akukozesa okusobola okukola enkyukakyuka ezituukana n’okusaba kwo.
4. Tusobola tutya okuyamba abayizi baffe aba Baibuli era n’ab’omu maka gaffe abatali bakkiriza okwetegekera olukuŋŋaana olunene?
4 Okuteekateeka Abayizi Bo aba Baibuli n’Ab’Omu Maka Go: Nga kyandibadde kya ssanyu okubeerawo mu lukuŋŋaana olunene awamu n’abayizi bo aba Baibuli ne beerabirako n’agaabwe okwagala okubeerawo mu b’oluganda nga bali “mu kibiina ekinene”! (Zab. 22:25) Bategeeza nga bukyali basobole okuffisaawo ebiseera eby’okubeerawo mu lukuŋŋaana. Bategeeze ensonga lwaki onyumirwa okubeerawo mu nkuŋŋaana ennene. Oyinza okubayamba abayizi bo okumanya ebinaabeera mu lukuŋŋaana olwo ng’obalaga vidiyo ez’enkuŋŋaana ennene ezaayita, naddala eyo eyitibwa United by Divine Teaching bwe eba nga weeri. Vidiyo gye zitali, oyinza okukozesa ebifaananyi ebiri ku lupapula 18 mu brocuwa eyitibwa Jehovah’s Witnesses—Unitedly Doing God’s Will Worldwide. Ab’omu maka go abatali bakkiriza nabo bategeeze enteekateeka zo. Oboolyawo bayinza okukola enteekateeka okulaba omuzannyo oba okubeerawo naawe waakiri olunaku lumu olw’olukuŋŋaana.
5, 6. (a) Tusobola tutya okwoleka omwoyo gw’okugaba ogwogerwako mu 1 Timoseewo 6:18? (b) Nteekateeka ki ekoleddwa okuyamba abamu abayinza okwetaaga obuyambi obw’eby’ensula?
5 Okuyamba Baganda Bo ne Bannyoko: Omutume Pawulo yawa amagezi Abakristaayo abo abaali abagagga mu by’omubiri “bakolenga obulungi, babeerenga abagagga mu bikolwa ebirungi, babeerenga bagabi, bassenga kimu.” (1 Tim. 6:17, 18) Tuyinza okwoleka omwoyo ogw’okugaba Pawulo gwe yakubiriza Abakristaayo okuba nagwo, bwe tulowooza ku mbeera ya bannamukadde n’abalina obulemu ku mubiri, abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, ab’omu maka agalimu omuzadde omu, era oboolyawo n’abalala abali mu kibiina abayinza okwetaaga okuyambibwa okubeerawo mu lukuŋŋaana olunene. Okusingira ddala ab’eŋŋanda z’abantu abo abali mu mazima be bavunaanyizibwa okuyamba abalinga abo. Kyokka, abakadde mu kibiina awamu n’abalala bayinza okukozesa amagezi ne bawa abantu ng’abo obuyambi nga bwe kiba kyetaagisizza.—Bag. 6:10; 1 Tim. 5:4.
6 Bwe kiba nti mu kibiina mulimu omubuulizi eyandyetaaze okuyambibwa okufuna aw’okusula, abo abali ku Kakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza balina okusalawo obanga omubuulizi oyo alina ebisanyizo ebyetaagisa okujjuza foomu eyitibwa Special Needs Room Request.
7. Bulagirizi ki obutuweereddwa bwe kiba nti tujja kugenda mu lukuŋŋaana olutali olwo ekibiina kyaffe lwe kijja okugendamu?
7 Okugenda mu Lukuŋŋaana Olulala: Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2007, kajja kubaamu olukalala lw’enkuŋŋaana ennene zonna ezinaaba mu East Africa. Bw’oba nga weetaaga okumanya ebisingawo ebikwata ku lukuŋŋaana olunene olutali olwo ekibiina kyo lwe kirina okugendamu, oyinza okuwandiikira abo abategeka olukuŋŋaana olwo ng’okozesa endagiriro omuwandiisi w’ekibiina kyo gy’anaakuwa eri ku foomu eyitibwa Special Needs Room Request. Ebbaluwa yo okusobola okuddibwamu, kakasa nti oweererezaako ebbaasa nga kuliko sitampu n’endagiriro.
8. Bulagirizi ki bwe tusaanidde okugoberera bwe tuba nga tuteekateeka okusula mu wooteeri?
8 Okukwata Ebifo mu Wooteeri: Bw’oba nga wandyagadde okusula mu wooteeri era nga weetaaga Ekitongole Ekikola ku by’Ensula kikuyambe okufuna wooteeri ennungi mu kibuga awanaabeera olukuŋŋaana olunene, osabibwa okuwandiikira Ekitongole ekyo era obategeeze ne ssente z’onoosobola okusasulira buli muntu, buli lunaku. Era laga obanga oneetaaga okukolerwako buli kimu mu wooteeri eyo, oba oneetaaga aw’okusula n’eky’enkya byokka, oba aw’okusula wokka.
9, 10. (a) We tutuukira awagenda okubeera olukuŋŋaana nteekateeka ki eziba zimaze okukolebwa ku lwaffe? (b) Tusobola tutya okulaga okusiima olw’ebyo byonna ebiba bikoleddwa ku lwaffe? (Soma Abaebbulaniya 13:17.)
9 Goberera Enteekateeka Ezikoleddwa: Bwe tutuuka mu kifo awagenda okubeera olukuŋŋaana olunene, kyeraga kaati nti waliwo bingi ebitegekeddwa tusobole okubeerawo mu lukuŋŋaana olwo. Ab’oluganda abaaniriza abagenyi batubuuzzaako, batuwa programu y’olukuŋŋaana, era ne batuyamba okufuna aw’okutuula. Baganda baffe ne bannyinaffe baba bayonjezza ekifo awagenda okuba olukuŋŋaana era nga ne siteegi bagitegese bulungi. Waliwo n’omulimu omunene ogutayinza kulabibwa ab’oluganda gwe bakoze nga bateekateeka ebitundu ebiri ku programu, nga bategeeragana ne bannannyini wooteeri, ssaako n’okukola ku bintu ebirala ebitali bimu.
10 Ku buli lukuŋŋaana olunene, ab’oluganda bangi baba bamaze emyezi egiwerako nga bakola enteekateeka ezeetaagisa, era nga n’ab’omu maka gaabwe balina kinene kye bakoze nga babalekera ebiseera ebimala okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obukulu. Tetusiima nnyo okwefiiriza okwo okukoleddwa tusobole okuganyulwa? Tusobola okulaga okusiima kwaffe nga tugoberera obulagirizi obuli mu kitundu kino awamu n’obulagirizi obulala bwe tuyinza okufuna ng’olukuŋŋaana olunene terunnabaawo. (Beb. 13:17) Ffenna bwe tukolaganira awamu, kisobozesa byonna ‘okukolebwa mu ngeri esaana era entegeke obulungi.’—1 Kol. 14:40.
11. (a) Lwaki enkuŋŋaana z’abantu ba Yakuwa nkulu nnyo mu biseera byaffe? (b) Buli omu ku ffe ayinza kukola ki kati?
11 ‘Nga bwe tulaba olunaku luli nga lunaatera okutuuka,’ kikulu nnyo abantu ba Katonda okukuŋŋaana awamu. (Beb. 10:25) Mu nkuŋŋaana zaffe ennene ez’Ekikristaayo, omuddu omwesigwa era ow’amagezi atuwa ebisobola okutuyamba ‘okukwatanga ebigambo byonna’ Yakuwa by’ayagala tugoberere. (Ma. 31:12) Tandikirawo kati okukola enteekateeka okubeerawo mu nnaku zonna essatu ez’Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olulina omutwe “Goberera Kristo!” osobole okuganyulwa mu bulagirizi obw’eby’omwoyo ne mu kubeera awamu n’ab’oluganda!
[Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Ebiseera bya Programu
Olwokutaano n’Olwomukaaga
3:30 ez’oku makya - 11:05 ez’olweggulo.
Ssande
3:30 ez’oku makya - 10:10 ez’olweggulo