LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 12/06 lup. 7
  • Ebirango

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 12/06 lup. 7

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Ddesemba: The Greatest Man Who Ever Lived. Oba tuyinza okukozesa ebitabo ebirala nga: The Bible​—God’s Word or Man’s?, Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, oba Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi. Jjanwali 2007: Akatabo konna ak’empapula 192 akalina empapula ezimyukiridde oba ako akaakubibwa ng’omwaka 1991 tegunnatuuka. Tuyinza n’okugaba akatabo Okumanya oba brocuwa Beera Bulindaala! Febwali: Tujja kugaba obutabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa ne Okumanya. Maaki: Tujja kugaba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era tufube nnyo okufuna abayizi ba Baibuli.

◼ Obupapula obuyita abantu okubeerawo ku Kijjukizo ky’omwaka 2007 obuli mu lulimi olukozesebwa mu buli kibiina, buli kumpi okuweerezebwa. Bwe kiba nti waliwo ennimi endala ezoogerwa mu kitundu kyammwe era nga mwandyagadde okufuna obupapula obwo mu nnimi ezo, busaanidde okulagirizibwa ku Foomu Okusabirwa Ebitabo (S-14) amangu ddala nga bwe kisoboka. Olukalala oluliko ennimi obupapula obwo mwe buli, lujja kuteekebwa mu “Kirango eri Ebibiina Byonna,” ekiweerezebwa buli mwezi. Musabibwa okulagiriza obupapula obwo bwokka obuli mu nnimi ezikozesebwa mu kitundu kyammwe.

◼ Musabibwa okwetegereza nti Ekijjukizo ky’omwaka 2008 kijja kubeerawo ku Lwomukaaga, Maaki 22, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Mutegeezebwa nga bukyali ab’oluganda basobole okukola entegeka ezeetaagisa ez’okufuna ebifo eby’okukuŋŋaaniramu, bwe kiba nti ebibiina ebiwerako byeyambisa Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu ng’era kyetaagisa okufunayo ebifo ebirala. Mu mbeera ng’eyo, abakadde basaanidde okukola endagaano ne bannannyini bifo ebyo okukakasa nti tewajja kubaawo kutaataaganyizibwa kwonna mu kizimbe ekyo. Olw’obukulu bw’omukolo guno, akakiiko k’abakadde bwe kaba kalonda omwogezi ku Kijjukizo, kandironzeeyo omu ku bakadde alina ebisaanyizo ebisingako mu kifo ky’okukikola obukozi mu mpalo oba okukozesa ow’oluganda y’omu buli mwaka. Bwe wabaawo omukadde eyafukibwako amafuta asobola okuwa okwogera okwo, ayinza okulondebwa.

◼ Ebitabo byonna ne magazini eziri mu kibiina zisaanidde okubalibwa nga Ddesemba 31, 2006, oba nga lunaatera okutuuka. Okubala kuno kufaanagana n’okwo omutabaganya w’ebibiina ku nsonga ezikwata ku bitabo kw’akola buli mwezi, era omuwendo gwabyo gusaanidde okuteekebwa ku foomu eyitibwa Literature Inventory (S-18). Omuwendo gwa magazini zonna eziri mu kibiina guyinza okufunibwa okuva eri abaweereza abakola ku magazini mu buli kibiina. Omuwandiisi mu kibiina ekitabaganya alina okukubiriza okubala kuno. Omuwandiisi oyo n’akubiriza akakiiko k’abakadde mu kibiina ekitabaganya basaanidde okussaako emikono ku foomu. Buli kibiina ekitabaganya kijja kufuna foomu ssatu eziyitibwa Literature Inventory (S-18). Musabibwa okuweereza kopi emu ku ttabi obutasukka Jjanwali nga 6, ate ey’okubiri mugiteeke mu fayiro zammwe. Kopi ey’okusatu muyinza okugikozesa nga mubala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share