Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti
◼ Aw’Okusimba Ebidduka: Buli awanaabeera olukuŋŋaana wajja kubaawo ekifo ekirungi aw’okusimba ebidduka ku bwereere, era anaasooka okutuuka y’ajja okusooka okufiibwako. Bbaagi z’olukuŋŋaana lwa disitulikiti ze zijja okusinziirwako okukuwa ekifo w’onoosimba ekidduka kyo. Okuva bwe kiri nti ekifo kino kitera okuba ekitono, bwe kiba kisoboka ab’oluganda abawerako bayinza okwegatta ne bakozesa ekidduka kimu.
◼ Eky’Emisana: Osabibwa okuleeta eby’okulya mu kifo ky’okugenda okubigula mu biseera eby’okuwummulamu. Oyinza okubissa mu ka konteyina akatonotono akagya wansi w’entebbe yo. Eby’okuteekamu emmere ebinene ennyo, ebyatika, n’ebitamiiza tebikkirizibwa mu lukuŋŋaana.
◼ Essaawa za Programu: Buli lunaku, programu ejja kutandikanga ku ssaawa 3:20 ez’oku makya. Abantu bayinza okutandika okutuuka awanaaba olukuŋŋaana okuva ku ssaawa 2:00 ez’oku makya. Obuyimba obuggulawo bwe butandika, ffenna tusaanidde okutuula mu bifo byaffe kisobozese olukuŋŋaana okutandika mu ngeri entegeke obulungi. Ku Lwokutaano ne ku Lwomukaaga, programu ejja kufundikirwa ku ssaawa 11:05 ez’olweggulo ate ku Ssande efundikirwe ku ssaawa 10:10 ez’olweggulo.
◼ Foomu Ezikwata ku Baagala Okumanya Ebisingawo: Foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) esaanidde okujjuzibwa bwe wabaawo ayagala okumanya ebisingawo aba abuuliddwa embagirawo mu lukuŋŋaana luno. Ababuulizi basaanidde okujja ne foomu emu oba bbiri ku lukuŋŋaana. Foomu zino tusobola n’okuzifuna mu Kitongole Ekikola ku Bitabo. Foomu ezimaze okujjuzibwa zisobola okuweebwayo mu Kitongole Ekikola ku Bitabo oba okuweebwa omuwandiisi w’ekibiina kyo.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali 2005, lup. 6.
◼ Obubenje n’Ebizibu Ebiggwawo Obugwi: Singa wabaawo omuntu afuna obulwadde obw’amangu ng’ali mu lukuŋŋaana, musabibwa okutuukirira omu ku abo abaaniriza abagenyi. Ow’oluganda oyo ajja kutegeeza Ekitongele Ekiwa Obuyambi obw’Amangu, omulwadde asobole okufuna obuyambi. Bwe kiba kyetaagisa, omulwadde asobola okutwalibwa mu ddwaliro eriri okumpi.
◼ Obuwoowo: Enkuŋŋaana ezimu zibeera munda mu bizimbe ebirimu ebyuma ebiyingiza empeewo. N’olwekyo, kyandibadde kirungi ne tuteekuba buwoowo buwunya nnyo obuyinza okuyisa obubi abalala.—1 Kol. 10:24.
◼ Okukwata Amaloboozi n’Ebifaananyi: Ebyuma ebikwata amaloboozi eby’engeri yonna tebirina kuyungibwa ku byuma by’amaloboozi ebikozesebwa ku lukuŋŋaana luno era bisaanidde okukozesebwa mu ngeri etataataaganya balala.
◼ Okukwata Ebifo eby’Okutuulamu: Abo bokka be watambudde nabo oba ab’omu maka go b’oyinza okukwatira ebifo.
◼ Okuwaayo: Ssente ezisaasanyizibwa okutegeka olukuŋŋaana lwa disitulikiti ziba nnyingi. Tusobola okulaga okusiima kwaffe nga tuwaayo kyeyagalire okuwagira omulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira nga tuli mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba mu nkuŋŋaana ennene. Ceeke eziweebwayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti, zirina kuweebwayo mu linnya lya International Bible Students Association.
◼ Wooteeri: (1) Saba ebisenge ebyo byokka bye munaakozesa, era abasulamu tebalina kusukka muwendo ogukkirizibwa. (2) Singa weesanga ng’ekisenge ky’osabye tojja kukikozesa, tegeerezaawo abo be kikwatako. (3) Akagaali akasitula emiggugu kakozese lw’oba okeetaaga lwokka, era okazzeeyo amangu ddala n’abalala basobole okukakozesa. (4) Tofumbira mu bisenge bwe kiba nga tekkirizibwa. (5) Buli lunaku oyo alabirira ekisenge mulekerewo akasiimo. (6) Ng’Abakristaayo, tetujja kukozesa bubi ebyo ebiweebwa abo ababa basuze mu wooteeri gamba nga eky’enkya oba ebintu ebirala. (7) Fuba okwoleka ebibala eby’omwoyo bw’oba okolagana n’abo abakola mu wooteeri, naddala mu biseera ng’abagenyi ab’okukolako bangi. (8) Singa ofuna ekizibu mu kisenge kya wooteeri ekiba kikuweereddwa, kakasa nti otegeeza Ekitongole Ekikola ku By’Ensula ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti.