Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Ssebutemba: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Tusaanide okufuba ennyo okutandika okuyigiriza abantu Baibuli ku mulundi gwe tuba tusoose okubakyalira. Abantu bwe baba n’akatabo ako, balage engeri gye tukakozesaamu nga tuyigiriza abantu Baibuli. Okitobba: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Abantu bwe baagala okumanya ebisingawo, bawe tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? era okubaganye nabo ebirowoozo ng’olina ekigendererwa eky’okutandika okubayigiriza Baibuli. Akatabo Okumanya nako kayinza okugabibwa. Noovemba: Tujja kugaba ekitabo Learn From the Great Teacher. Abantu bwe bagamba nti tebalina baana, bawe brocuwa Beera Bulindaala! Ddesemba: Tujja kugaba ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Oba tuyinza okugaba akatabo Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa oba Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka.
◼ Okuva bwe kiri nti omwezi gwa Ssebutemba gulimu wiikendi ttaano, kyandibadde kirungi okuweereza nga payoniya omuwagizi.
◼ Ebibiina bisaanidde okutandika okulagiriza emizingo gya Watchtower ne Awake! egya 2007, Watch Tower Publications Index 2007, ne Watchtower Library—2007 Edition eri ku CD-ROM nga bisaba ebitabo ku mulundi ogunaddako. Olukalala okuli ennimi ebintu bino mwe biri lujja kubeera mu bbaluwa eweerezebwa ebibiina byonna buli mwezi erina omutwe “Ekirango eri Ebibiina Byonna.” Kijjukire nti Watchtower Library—2007 Edition erina kuweebwa babuulizi ababatize bokka era balina kugisaba nga bayitira mu kibiina.
◼ Vidiyo eyitibwa Jehovah’s Witnesses—Organized to Share the Good News ejja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu Ddesemba. Ayagala okufuna vidiyo eno asobola okugiragiriza ng’ayitira mu kibiina amangu ddala nga bwe kisoboka.
◼ Okwogera okw’enjawulo mu kiseera ky’Ekijjukizo mu 2008 kujja kuweebwa mu wiiki etandika nga Maaki 31, 2008. Omutwe gw’okwogera okwo gujja kubategeezebwa oluvannyuma. Ebibiina ebinaaba n’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu oba olukuŋŋaana olunene mu wiiki eyo bijja kufuna okwogera okw’enjawulo wiiki eddako. Tewali kibiina kikkirizibwa kufuna kwogera kuno nga wiiki etandika nga Maaki 31, 2008 tennatuuka.
◼ Omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu yenna gw’aba alonze asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina eby’omwezi gwa Jjuuni, Jjulaayi, ne Agusito. Nga kino kimaze okukolebwa, ekibiina kisaanidde okutegeezebwa nga lipoota y’eby’embalirira eddako emaze okusomebwa.—Laba foomu eyitibwa Instructions for Congregation Accounting (S-27).