Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Ddala ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ awagira obubinja bw’Abajulirwa abakuŋŋaana awamu okunoonyereza ku Byawandiikibwa n’okubikubaganyaako ebirowoozo?—Mat. 24:45, 47.
Nedda, tabuwagira. Wadde kiri kityo, mu bitundu bingi eby’ensi, abamu ku b’oluganda beekoleddewo obubinja okusobola okunoonyereza ku bintu ebimu ebikwata ku Baibuli. Abamu batandiseewo obubinja ng’obwo n’ekigendererwa eky’okuyiga Olwebbulaniya n’Oluyonaani, ennimi ezaakozesebwa mu kuwandiika Baibuli, basobole okwekenneenya obutuufu bw’enkyusa eya New World Translation. Abalala banoonyereza ku nsonga za sayansi ezeekuusa ku Baibuli. Bataddewo emikutu gya Internet nga balina ekigendererwa eky’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga zaabwe. Era bategeseewo enkuŋŋaana ne bakuba n’ebitabo okusobola okulaga ebyo bye bazudde mu kunoonyereza kwabwe n’okwongereza ku ebyo ebituweebwa okuyitira mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo ne mu bitabo byaffe.
Okwetooloola ensi yonna, abantu ba Yakuwa bafuna obulagirizi bungi nnyo obw’eby’omwoyo era bazzibwamu amaanyi mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mu nkuŋŋaana ennene n’okuyitira mu bitabo ebifulumizibwa ekibiina kya Yakuwa. Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu era n’Ekigambo kye eky’amazima, Yakuwa awa abantu be bye beetaaga basobole ‘okugattirwa ddala mu magezi gamu ne mu kulowooza kumu’ era basigale nga ‘banywezeddwa mu kukkiriza.’ (1 Kol. 1:10; Bak. 2:6, 7) Mazima ddala tusiima nnyo enteekateeka ez’eby’omwoyo Yakuwa z’atuteereddewo mu nnaku zino ez’oluvannyuma. N’olw’ensonga eyo, “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” tawagira bitabo byonna ebifulumizibwa, enkuŋŋaana ezitegekebwa, n’emikutu gya Internet egiteekebwawo awatali bulagirizi bwe.—Mat. 24:45-47.
Kirungi abantu okukozesa obusobozi bwabwe obw’okulowooza okuwagira amawulire amalungi. Kyokka, tewali muntu asaanidde kukola kintu kyonna ekyawukana ku ebyo Yesu Kristo by’atuukiriza leero ng’ayitira mu kibiina kye eky’oku nsi. Mu kyasa ekyasooka, omutume Pawulo yawa okulabula okukwata ku kwemalira ku bintu ebikooya era ebitwala ebiseera gamba nga ‘okulondoola enkalala empanvu ez’amannya ga bajjajjaabwe, ebyongera empaka, mu kifo ky’okuyigiriza abantu ebya Katonda, ebiri mu kukkiriza.’ (1 Tim. 1:3-7) Abakristaayo bonna basaanidde okufuba ‘okwewala ebibuuzo eby’ekisiru, n’okukaayana ku nkalala z’amannya ga bajjajja b’abantu n’okuwakanira ebikwata ku Mateeka, kubanga ebyo tebiriiko kye bigasa era bya bwereere.’—Tito 3:9.
Abo abandyagadde okwongera okuyiga ebikwata ku Baibuli era n’okuginoonyerezaako, tubakubiriza okwekenneenya ekitabo Insight on the Scriptures, “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial,” n’ebitabo ebirala, gamba ng’ebyo ebyogera ku bunnabbi obusangibwa mu kitabo kya Danyeri, Isaaya, ne Okubikkulirwa. Mu bitabo ebyo mulimu ebintu bingi nnyo ebikwata ku Baibuli bye tusobola okuyiga era n’okufumiitirizaako, ne tusobola ‘okujjuzibwa okumanya okutuufu okw’ebyo [Katonda] by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’eby’omwoyo, ne tutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa okusobola okumusanyusiza ddala nga tweyongeranga okubala ebibala mu buli mulimu omulungi era nga tweyongeranga okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Katonda.’—Bak. 1:9, 10.