Kaweefube w’Okubuulira Atabangawo mu Nsi!
Okumala emyaka egisukka mu 100, Abajulirwa ba Yakuwa babadde babuulira amawulire amalungi. (1 Kol. 9:23) Mu kaweefube ono ow’okubuulira atabangawo mu nsi, tuwa obubaka mu nnimi nnyingi nnyo. Tubuulira obubaka buno mu nsi ezisukka mu 230. (Mat. 24:14) Naye lwaki kyetaagisa okukola omulimu guno? Era gukolebwa gutya mu nsi yonna?
Vidiyo eyitibwa Jehovah’s Witnesses—Organized to Share the Good News eddamu ebibuuzo bino ng’etuyamba okutegeera obulungi emirimu egitali gimu egikolebwa mu nsi yonna. Ng’olaba vidiyo eno, lowooza ku bibuuzo bino: (1) Omulimu gwaffe gutegekeddwa gutya era gukubirizibwa gutya? (2) Ebitongole ebikola ku Kuwandiika, Okuvvuunula, Okukuba Ebifaananyi, n’Okukwata Amaloboozi ne Vidiyo biyamba bitya mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi? (3) Tulina kigendererwa ki mu kukuba ebitabo ebingi era n’okubiweereza mu nsi ez’enjawulo? (Yok. 17:3) (4) Ebitabo ebikubibwa buli mwaka bingi kwenkana wa? (5) Ebitabo byaffe ebinnyonnyola Baibuli bikola mulimu ki? (Beb. 4:12) (6) Kiki ekikolebwa okusobola okuyamba abo abatalaba bulungi oba abatawulira bulungi? (7) Omulimu gwaffe guwagirwa gutya mu by’ensimbi? (8) Tuganyulwa tutya mu Kakiiko Akoogeraganya n’Abasawo, mu Kitongole Ekikola ku Buweereza, ne mu ekyo Ekikola ku Kutegeka Enkuŋŋaana za Disitulikiti? (9) Ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, vidiyo eno ekuyambye etya okweyongera okutegeera (a) omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ogukolebwa ekibiina kya Yakuwa? (b) amaka ga Beseri agasukka mu 100 agali mu nsi ez’enjawulo? (c) okutendekebwa kw’abalabirizi n’abaminsani? (d) omugaso oguli mu kwetegekera enkuŋŋaana eza buli wiiki n’okutandika olunaku nga twekenneenya ekyawandiikibwa eky’olunaku? (e) omugaso oguli mu kubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo? (f) embeera ezinaabeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi? (Is. 11:9) (g) okwenyigira kinnoomu mu mulimu gw’amakungula ogukolebwa?—Yok. 4:35.
Birungi ki ebivudde mu kulaba vidiyo eno ng’oli wamu n’abeŋŋanda zo, mikwano gyo, abo b’oddiŋŋana, n’abo b’oyigiriza Baibuli? Lwaki vidiyo eno togiraga abo b’obuulira amawulire amalungi amangu ddala nga bwe kisoboka?—Mat. 28:19, 20.