Okwejjukanya mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Apuli 28, 2008. Akubiriza essomero ajja kukubiriza okwejjukanya mu ddakiika 30, ng’akwesigamya ku bye twayiga okuva nga Maaki 3 okutuuka mu wiiki etandika nga Apuli 28, 2008.
ENGERI ENNUNGI EY’OKWOGERAMU
1. Lwaki kikulu nnyo okuzimbira emboozi zaffe ku ebyo ebiba bituweereddwa, era kino tuyinza kukikola tutya? [be lup. 234 kat. 1–lup. 235 kat. 1]
2. Lwaki kikulu nnyo okukozesa ebibuuzo nga tuyigiriza? [be lup. 236 kat. 1-5]
3. Ebibuuzo biyinza bitya okuyamba abawuliriza okulowooza ku nsonga gye tuba twogerako? [be lup. 237 kat. 3–lup. 238 kat. 1]
4. Bwe tuba tuyigiriza, lwaki kikulu okukozesa obulungi ebibuuzo okusobola okutegeera enneewulira z’abantu? (Nge. 20:5; Mat. 16:13-16; Yok. 11:26) [be lup. 238 kat. 3-5]
5. Miganyulo ki egiri mu kugeraageranya ebintu nga tuyigiriza? (Lub. 22:17; Yer. 13:11) [be lup. 240 kat. 1-3]
EMBOOZI 1
6. Misingi ki egimu egiri mu kitabo kya Makko eginaatuyamba okufuna obulamu wansi w’Obwakabaka bwa Katonda? [bsi08-1-LU lup. 8 kat. 32]
7. Omwoyo omutukuvu guyamba gutya abaweereza ba Katonda leero? (Yok. 14:25, 26) [be lup. 19 kat. 2-3]
8. Muganyulo ki ogusingayo obukulu oguli mu kusoma? [be lup. 21 kat. 3]
9. Okweyigiriza kuzingiramu ki? [be lup. 27 kat. 3–lup. 28 kat. 1]
10. Enjiri ya Lukka etuyamba etya okweyongera okuba abakakafu nti Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byaluŋŋamizibwa Katonda? [bsi08-1-LU lup. 10 kat. 30-1]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Lwaki Yesu yagolola omusajja eyamuyita “Omuyigiriza omulungi”? (Mak. 10:17, 18) [w08-LU 2/15 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Makko”]
12. Ng’akozesa omutiini, kiki Yesu kye yalaga ku bikwata ku ggwanga lya Isiraeri? (Mak. 11:12-14, 20, 21) [w03 5/15 lup. 26 kat. 2-3]
13. Kiki malayika Gabulyeri kye yali ategeeza bwe yagamba Malyamu nti ‘yandifunye olubuto’ ng’omwoyo gwa Katonda omutukuvu gumujjidde era nga n’amaanyi ga Katonda gamusiikirizza? (Luk. 1:30, 31, 34, 35) [w08-LU 3/15 “Ekigambo kya Yakuwa Kiramu—Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Lukka”; it-2 lup. 56 kat. 2]
14. Ddala abayigirizwa ba Yesu baali bakola ekintu ‘ekyali eky’omuzizo ku Ssabbiiti’? (Luk. 6:1, 2) [gt 31]
15. Kiki kye tuyinza okuyigira ku kubuulirira Yesu kwe yawa Maliza? (Luk. 10:40-42) [w99 9/1 lup. 31]