Enteekateeka y’Enkuŋŋaana z’Obuweereza
Wiiki Etandika Maayi 12
Oluyimba 10
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4 oba ebirala ebituukirawo mu kitundu kyammwe, laga engeri ey’okugabamu Watchtower eya Apuli 1 ne Awake! eya Apuli.
Ddak. 15: Tusobola Okwaŋŋanga Okugezesebwa Kwonna! Kwogera okwesigamiziddwa ku Watchtower eya Jjuuni 15, 2005, olupapula 30-1. Saba abamu ku babuulizi boogere ku ngeri Yakuwa gye yabayambamu okwaŋŋanga ekizibu kye baalina.
Ddak. 20: Osobola Okuweereza nga Payoniya Omuwagizi mu Kiseera ky’Oluwummula? Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Mwogere ku ebyo ebiri mu katabo Organized to Do Jehovah’s Will, olupapula 112-13 awalaga ebisaanyizo by’okuweereza nga payoniya omuwagizi. Saba abo abaaweereza nga bapayoniya abawagizi nga bakozesa ennaku zaabwe ezitali za kukola, boogere ku mikisa gye baafuna. Era saba n’abayizi abaaweereza nga bapayoniya abawagizi mu biseera by’oluwummula boogere ku ngeri abalala gye baabazzaamu amaanyi era ne babayamba. Okuweereza nga bapayoniya abawagizi kyabayamba kitya okukulaakulana mu by’omwoyo? Ssanyu ki lye baafuna? Kubiriza bonna abalina ebisaanyizo okulowooza ku ky’okuweereza nga bapayoniya mu nnaku ez’okuwummula.
Oluyimba 83
Wiiki Etandika Maayi 19
Oluyimba 22
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Yogera ku ebyo ebiri mu Kasanduuko k’Ebibuuzo.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: “Osobola Okufuna Obugagga!”a Yogera ku bisaanyizo by’okuweereza nga payoniya owa bulijjo, ebiri mu katabo Organized, olupapula 113-14. Abo abaagala okutandika okuweereza nga bapayoniya okuva nga Ssebutemba 1 basaanidde okuwaayo okusaba kwabwe amangu ddala nga bwe kisoboka.
Oluyimba 31
Wiiki Etandika Maayi 26
Oluyimba 92
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Soma alipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti ssente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Maayi. Ng’okozesa ennyanjula eziri ku lupapula 4 oba endala ezituukagana n’ekitundu kyammwe, laga engeri y’okugabamu Watchtower eya Maayi 1 ne Awake! eya Maayi.
Ddak. 15: “‘Mwetikke Ekikoligo Kyange.’ ”b Ebiseera bwe bibaawo, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa.
Ddak. 20: Gaba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza mu mwezi gwa Jjuuni. Kwogera n’okulaga ekyokulabirako. Mwejjukanye ezimu ku nnyanjula eziri ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2006. Laga ekyokulabirako nga kirimu ebitundu bibiri. Laga engeri gye tuyinza okugabiramu abantu akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza era n’engeri gye tuyinza okubaddira nga tulina ekigendererwa eky’okutandika okuyiga nabo Baibuli.
Oluyimba 75
Wiiki Etandika Jjuuni 2
Oluyimba 99
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 20: Abeesigwa Bafuna Emikisa Mingi. (Nge. 28:20) Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Mu bufunze, yogera ku ngeri Yakuwa gy’awaddemu ekibiina kyammwe omukisa olw’okufuba okwongera ku buweereza bwammwe mu mwezi gwa Maaki, Apuli, ne Maayi, era weebaze ab’oluganda. Yogera omuwendo gw’abo abaaweereza nga bapayoniya abawagizi, omuwendo gw’abayizi ba Baibuli abaafunibwa, n’ebintu ebirala ebirungi ebyatuukibwako mu buweereza. Saba abawuliriza boogere ku byokulabirako bye baafuna ebikwata ku mukolo gw’Ekijjukizo ne ku kaweefube eyakolebwa ow’okugaba obupapula obuyita abantu okubaawo ku mukolo ogwo. Ebyokulabirako ebirungi ennyo biyinza okulagibwa ddala nga bwe byali. Mu bufunze, saba ababuulizi babiri oba basatu boogere ku mikisa gye baafuna mu kuweereza nga bapayoniya abawagizi.
Ddak. 15: “‘Weeteeketeeke Okukola Buli Mulimu Omulungi.’ ”c Saba abawuliriza boogere ku ngeri gye beeteekateekamu nga bagenda okubuulira nnyumba ku nnyumba, era ne ddi kino lwe bakikola.
Oluyimba 84
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kuweza ddakiika, n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.