LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 5/08 lup. 3
  • Ebirango

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebirango
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 5/08 lup. 3

Ebirango

◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maayi: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! n’akatabo Sinza Katonda Omu ow’Amazima. Fuba okutandika okuyigiriza abantu Baibuli ng’okozesa akatabo Sinza Katonda, naddala singa baba bamaze okusoma akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza n’akatabo Atwetaagisa Ki? Jjuuni: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? era tufube nnyo okufuna be tuyigiriza Baibuli. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino wammanga ez’empapula-32 eyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life​—How to Attain It, Beera Bulindaala!, Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Ekkubo Erituusa mu Bulamu Obutaggwaawo​—Olizudde?, Emyoyo gy’Abafu​—Giyinza Okukuyamba oba Okukulumya? Ddala Gye Giri?, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda, Kiki Ekitutuukako bwe Tufa?, “Look! I Am Making All Things New,” Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Omwagalwa Wo bw’Afa, Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda, Our Problems​—Who Will Help Us Solve Them?, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life​—How Can You Find It?, ne Will There Ever Be a World Without War?, era ne brocuwa endala zonna eziri mu nnimi ez’ogerwa mu kitundu kyammwe.

◼ Obukiiko bw’abakadde busaanidde okwejjukanya ebbaluwa eya Jjulaayi 6, 2006, ekwata ku kwetegekera obutyabaga, era n’okukakasa nti balina endagiriro entuufu eya buli mubuulizi. Mu bitundu ebitera okugwamu obutyabaga, ababuulizi basaanidde okuwa abakadde endagiriro z’abo abayinza okutuukirirwa nga waguddewo obuzibu obw’amangu. Kya lwatu nti ng’oggyeko okwetegekera obutyabaga, kiba kirungi ababuulizi ne bategeeza omukadde akubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina oba omukadde omulala yenna, bwe baba nga tebajja kubaawo okumala ebbanga eriwerako. Ng’ekyokulabirako, kino bayinza okukikola bwe baba nga balina gye bagenda okuwummulirako oba okukola bizineesi, oba nga bajja kumala ekiseera ekiwanvuko mu ddwaliro.

◼ Mutegeezebwa nti tetujja kuba na bupapula obw’enjawulo obuyita abantu okubaawo ku lukuŋŋaana lwa disitulikiti olwa 2008. Wadde kiri kityo, tuteekateeka okwenyigira mu kaweefube ow’ensi yonna mu kiseera ekitali kya wala. Ebirala ebikwata ku nteekateeka eno bijja kubategeezebwa gye bujjako awo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza