Programu Empya ey’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu
Omutwe gw’olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu olw’omwaka gw’obuweereza 2009 gujja kuba “Fubanga Okutuukiriza Obuweereza Bwo,” nga gwesigamiziddwa ku Abakkolosaayi 4:17, NW. Ng’Abakristaayo, okubuulirira okwo tukutwala nga kukulu nnyo. Ekiruubirirwa kyaffe kwe kutuukiriza obuweereza bwaffe nga Yesu bwe yakola. (Yok. 17:4) Omutume Pawulo naye yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ku nsonga eno. Yali mumalirivu okutuukiriza obuweereza bwe.—Bik. 20:24.
Omulabirizi w’ekitundu ajja kutulaga engeri ababuulizi abatali bamu gye bavvuunukamu ebizibu mu buweereza bwabwe. Okwogera okulina omutwe “Yamba Ekyo Kye Wasimba Okukula Obulungi” kujja kutulaga engeri gye tuyinza okuyambamu abo ‘abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo.’ (Bik. 13:48, NW) Omwogezi anaaba akyadde ajja kunnyonnyola 2 Abakkolinso 6:1-10, lunyiriri ku lunyiriri, mu kwogera okulina omutwe “Engeri Gye Tuyinza Okukiraga nti Tuli Baweereza.” Olweggulo ajja kuwa okwogera okulina omutwe “Obuweereza bwo Butwale nga bwa Muwendo Nnyo.” Awatali kubuusabuusa ojja kuzzibwamu nnyo amaanyi okwogera okulina omutwe “Abakulu n’Abato Banyumirwa Obuweereza” ne “Abavubuka Abatuukiriza Obuweereza Bwabwe.” Abo abandyagadde okwoleka okwewaayo kwabwe nga babatizibwa mu lukuŋŋaana lw’ekitundu oba mu olwo olw’olunaku olumu, basaanidde okutegeeza omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde amangu ddala nga bwe kisoboka. Okwekenneenya Omunaala gw’Omukuumi kiba kitundu kikulu nnyo mu nkuŋŋaana zonna ennene. Jjangu n’akatabo ko ak’Omunaala gw’Omukuumi akanaasomebwa mu wiiki eyo ey’olukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu.
Okusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe, tufuba okulaba nti ebintu ebirala tebitulemesa kukola mulimu Yakuwa gw’atukwasizza. Okuzzibwamu amaanyi okwesigamiziddwa ku byawandiikibwa kwe tunaafuna mu lukuŋŋaana luno olunene olw’olunaku olumu kusaanidde okutuyamba ffenna okutegeera ekyo kye twetaaga okukola okusobola okubeera n’endowooza entuufu era n’okufumiitiriza ku ebyo bye tukola mu buweereza tusobole okubutuukiriza mu bujjuvu.