Yigiriza Abalala Okwagala Yakuwa
1. Biki ebireetera abamu okwagala Yakuwa?
1 Ojjukira ekiseera lwe wasooka okuwulira ebikwata ku Yakuwa? Kiki ekyakuleetera okumwagala? Abantu bangi abeesimbu bajja kukugamba nti ekyabaleetera okwagala ennyo Omutonzi waffe kwe kuyiga ebikwata ku ngeri ze ez’ekitalo, naddala ekisa kye n’okwagala kwe.—Yok. 4:8.
2, 3. Tuyinza tutya okukozesa akatabo Baibuli ky’eyigiriza okuyamba abayizi ba Baibuli okweyongera okwagala Yakuwa?
2 “Ono Ye Katonda Waffe”: Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza ka ssa nnyo essira ku kwagala kwa Yakuwa era kalaga nti kikulu nnyo okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Tuyinza tutya okukozesa akatabo kano okuyamba abalala okweyongera okwagala Katonda? Bwe tuba tuyigiriza omuntu ensonga gy’abadde tamanyi, tuyinza okumubuuza ebibuuzo ebimuyamba okulowooza. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okumubuuza nti: “Kino kikuyigiriza ki ku Yakuwa?” oba “Ensonga eno eraga etya nti Yakuwa ye Kitaffe asingayo obulungi?” Bwe tuyigiriza mu ngeri eno, kisobola okuyamba omuyizi wa Baibuli okutandika okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa.
3 Bwe tuyamba abayizi ba Baibuli okukimanya nti nkizo ya maanyi okuyiga ebikwata ku Katonda omu ow’amazima, bajja kukitegeera nti “ono ye Katonda waffe,” nga bwe kiragibwa mu bigambo bya Isaaya. (Is. 25:9) Bwe tuba tunnyonnyola Ekigambo kya Katonda, tusaanidde okussa essira ku mikisa abantu gye bajja okufuna nga Yakuwa atuukiriza ebigendererwa bye okuyitira mu gavumenti ye efugibwa Kristo Yesu.—Is. 9:6, 7.
4, 5. Okwagala Yakuwa Kitegeeza ki?
4 Ekiraga nti Twagala Yakuwa: Tukimany bulungi nti okwagala Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna tekikoma ku kuwulira buwulizi nti tumwagala. Kitwetaagisa okutegeera ebyo by’ayagala era ne tubikolerako. (Zab. 97:10) Tulaga nti twagala Katonda nga tugondera ebiragiro bye byonna era nga tweyongera okuba ‘n’empisa entukuvu awamu n’ebikolwa eby’okutya Katonda,’ ka tube nga twolekaganye n’ebigezo oba n’okuziyizibwa.—2 Peet. 3:11; 2 Yok. 6.
5 Olw’okuba twagala Katonda, kitusanyusa nnyo okukola by’ayagala. (Zab. 40:8) Omuyizi wa Baibuli alina okukitegeera nti Katonda yassaawo ebiragiro bye olw’okuganyula abaweereza be emirembe gyonna. (Ma. 10:12, 13) Omuntu bw’agoberera obulagirizi bwa Yakuwa,aba alaga nti asiima ebikolwa bye byonna eby’ekitalo. Yamba omuyizi wa Baibuli okukitegeera nti okutambulira mu makubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu kijja kumuyamba okwewala okugwa mu bizibu.
6. Mikisa ki egiyinza okufunibwa abo abaagala Yakuwa?
6 Emikisa Egifunibwa Abo Abaagala Katonda: Yakuwa afaayo nnyo ku bawonbeefu abamwagala, era ababikkulira ‘ebintu bya Katonda eby’ebuziba.’ (1 Kor. 2:9, 10, NW) Bwe bategeera ebigendererwa bya Yakuwa, baba n’essuubi ekkakafu ery’ebiseera eby’omu maaso. (Yer. 29:11) Yakuwa alaga ekisa eky’ensusso eri abo abamwagala. (Kuv. 20:6) Olw’okuba bakimanyi nti Yakuwa abaagala nnyo, beesunga okufuna obulamu obutaggwaawo.—Yok. 3:16.
7. Eky’okuyigiriza abalala okwagala Yakuwa, okitwala otya?
7 Gye tukoma okumanya ebikwata ku kitaaffe ow’omu ggulu, gye tukoma okwagala okubibulirako abalala. (Mat. 13:52) Nga nkizo ya maayi nnyo okuyigiriza abalala okwagala Yakuwa, naddala abaana baffe! (Ma. 6:5-7) Ka ffenna awamu n’abayizi baffe aba Baibuli, tweyongere okutendereza Yakuwa era tuganyulwe mu ‘bulungi bwe obungi.’—Zab. 145:7.