Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Okitobba: Tujja kugaba Watchtower ne Awake! Bw’osanga omuntu ayagala okumanya ebisingawo, muwe tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli? era okubaganye naye ebirowoozo ng’olina ekiruubirirwa eky’okutandika okumuyigiriza Baibuli. Noovemba: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? era tufube okufuna abayizi ba Baibuli. Era tuyinza n’okugaba akatabo Okumanya. Ddesemba: Tujja kugaba ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived. Abantu bwe bagamba nti balina abaana, bawe ekitabo Learn From the Great Teacher. Jjanwali: Tujja kugaba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Abantu bwe baba ng’akatabo kano bakalina, bayinza okuweebwa akatabo konna ak’empapula 192 akaakubibwa ku mpapula ezimyukiridde oba akatabo konna akaakubibwa ng’omwaka 1992 tegunnatuuka.
◼ Okuva bwe kiri nti omwezi gwa Noovemba gulimu wiikendi ttaano, kyandibadde kirungi okuweereza payoniya omuwagizi.
◼ Ebirina okwetegerezebwa omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde n’omulabirizi w’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda: Enteekateeka empya ey’olukuŋŋaana lw’ekibiina ejja kutandika mu wiiki etandika nga Ddesemba 29, 2008, era enteekateeka eno ekyusiddwamu ejja kulagibwa mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ddesemba 2008. Bwe munaaba mukubiriza Okwejjukanya kwa wiiki eyo, mukakase nti mugoberera obulagirizi obukwata ku Kwejjukanya obuli mu Nteekateeka y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda eya 2009. Tewajja kubaawo kitundu eky’engeri ennungi ey’okwogeramu n’emboozi esooka.
◼ Vidiyo eyitibwa No Blood—Medicine Meets the Challenge ejja kukubaganyizibwako ebirowoozo mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza mu Jjanwali. Abagyetaaga basaanidde okugisaba okuyitira mu kibiina kyabwe amangu ddala nga bwe kisoboka.