LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 10/08 lup. 1
  • Enteekateeka Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekibiina

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enteekateeka Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekibiina
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
  • Similar Material
  • Enkuŋŋaana z’Okugenda Okubuulira Zituganyula Nnyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Oyanirizibwa n’Essanyu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Obulagirizi obukwata ku lukuŋŋaana lw’obulamu bw’ekikristaayo
    Obulagirizi Obukwata ku Lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2008
km 10/08 lup. 1

Enteekateeka Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekibiina

1, 2. Nkyukakyuka ki ezinaabaawo mu nkuŋŋaana okutandika ne Jjanwali 2009?

1 Ab’oluganda mu nsi yonna baawulira ekirango ekirungi ennyo mu wiiki eya Apuli 21-27, 2008. “Okutandika ne Jjanwali 1, 2009, Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina kujja kubangawo ku lunaku lwe lumu n’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda era n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza. Erinnya ly’Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina lijja kukyusibwa libeere Okusoma Baibuli okw’Ekibiina.”

2 Enteekateeka y’Olukuŋŋaana Luno Olwa Buli Wiiki: Olukuŋŋaana luno lwonna, nga mw’otwalidde n’oluyimba n’okusaba, lujja kutwala essaawa 1 n’eddakiika 45. Ng’Okusoma Baibuli okw’Ekibiina tekunnatandika (Ddak. 25), wajja kubaawo oluyimba n’okusaba (Ddak. 5). Oluvannyuma wajja kuddawo Essomero ly’Omulimu gwa Katonda (Ddak. 30). Ng’ebyo biwedde, wajja kubaawo oluyimba (Ddak. 5) oluggulawo Olukuŋŋaana lw’Obuweereza (Ddak. 35). Olukuŋŋaana luno lujja kufundikirwa n’oluyimba n’okusaba (Ddak. 5). Okusobola okukuyamba okwetegekera enkuŋŋaana zino, Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka buli mwezi kajja kubangamu enteekateeka y’Okusoma Baibuli okw’Ekibiina, ey’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, n’ey’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza.

3. Olukuŋŋaana lw’Okusoma Baibuli okw’Ekibiina lunaakubirizibwanga lutya?

3 Okusoma Baibuli okw’Ekibiina: Olukuŋŋaana luno lujja kukubirizibwa mu ngeri y’emu ng’Olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Tekijja kwetaagisa kusooka kwejjukanya ebyo bye twayiga mu wiiki ewedde. Mu kifo ky’ekyo, alukubiriza ajja kukozesa ebigambo bitono ddala ng’alwanjula. Kino kijja kusobozesa bonna abaliwo okuba n’ebiseera ebimala okubaako bye baddamu. Omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde y’ajja okulonda abakadde abanaakubirizanga olukuŋŋaana luno mu mpalo.

4. Nkyukakyuka ki ezinaaba mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza?

4 Olukuŋŋaana lw’Obuweereza: Olukuŋŋaana lw’Obuweereza lujja kusigala nga bwe luli kati naye ng’ebitundu byalwo bifunziddwamu. Ebirango bijja kutwalanga eddakiika ttaano. Ebiseera bino bijja kuba bimala okusomeramu ebirango ebikulu awamu n’ebbaluwa ezimu okuva ku ttabi. Ebirango, gamba ng’ebyo ebikwata ku nteekateeka y’olukuŋŋaana lw’ennimiro, enteekateeka y’okulongoosa, lipoota y’eby’embalirira, n’ebbaluwa ezitera okufunibwa okuva ku ofiisi y’ettabi tebirina kusomebwa ku pulatifoomu, naye bijja kuteekebwanga awatimbibwa amabaluwa kisobozese ab’oluganda okubisoma. Abo abanaabanga n’ebitundu mu lukuŋŋaana luno basaanidde okutegeka obulungi, okukwata ebiseera, era n’okugoberera obulagirizi bwonna obuba buweereddwa.

5. Nteekateeka ki ey’enkuŋŋaana z’ekibiina eneegobererwanga ng’omulabirizi w’ekitundu akyadde?

5 Ng’Omulabirizi w’Ekitundu Akyadde: Enteekateeka ya wiiki y’omulabirizi w’ekitundu tejja kukyusibwamu. Ku Lwokubiri, Olukuŋŋaana lw’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza zijja kufundikirwa n’oluyimba. Oluvannyuma, omulabirizi w’ekitundu ajja kuwa okwogera kwa ddakiika 30. Nga bwe kiba leero ng’omulabirizi w’ekitundu akyadde, Olukuŋŋaana lw’Okusoma Baibuli okw’Ekibiina lujja kubangawo ku lunaku lulala era nga lujja kufundikirwanga n’oluyimba, n’oluvannyuma omulabirizi w’ekitundu awe okwogera kwe. Olukuŋŋaana luno lujja kufundikirwanga n’oluyimba n’okusaba.

6. Buvunaanyizibwa ki omulabirizi w’ekibinja bw’ajja okuba nabwo?

6 Enkuŋŋaana z’Okugenda mu Nnimiro: Akakiiko k’abakadde kajja kulonda abalabirizi b’ebibinja basobole okulabirira ebibinja by’okugenda mu buweereza bw’ennimiro n’okuyamba ab’oluganda kinnoomu abali mu bibinja ebyo. Bwe kiba nti omuweereza y’aweereddwa obuvunaanyizibwa obwo, asaanidde okuyitibwa “omuweereza ow’ekibinja.”

7. Biki bye twesunga mu nteekateeka empya ey’olukuŋŋaana lw’ekibiina?

7 Nga bwe kiragiddwa, kyeyoleka kaati nti tujja kuganyulwa nnyo mu nteekateeka eyo ey’eby’omwoyo. Kino kijja kutusobozesa okuba ababuulizi era abayigiriza abalungi, abatendekeddwa okusobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe.​—Bef. 4:13, 14; 2 Tim. 3:17.

8. Okutegeka nga bukyali kinaatuganyula kitya era kinaaganyula kitya abalala?

8 Bwe tunaategeka enkuŋŋaana zino nga bukyali kijja kutuyamba okutegeera obulungi ensonga enkulu ezinassibwako essira mu buli lukuŋŋaana. Ffenna tujja kufuna akakisa okubaako bye tuddamu, kitusobozese okuziŋŋanamu amaanyi. (Bar. 1:11, 12; Beb. 10:24) Tusaanidde okuba n’ekiruubirirwa ‘eky’okwoleka okukulaakulana kwaffe’ nga ‘tukwata ekigambo eky’amazima mu ngeri entuufu.’​—1 Tim. 4:15, NW; 2 Tim. 2:15, NW.

9. Twandimaliridde kukola ki, era lwaki?

9 Tuli basanyufu nnyo olw’enkyukakyuka eno ekwata ku nkuŋŋaana z’ekibiina. Ka ffenna tugoberere obulagirizi ‘bw’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ kitusobozese okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere n’Omusumba waffe Omukulu nga bw’atuteekateeka okusobola okuyita mu ‘kibonyoobonyo’ ekinene ekibindabinda.​—Mat. 24:21, 45; Beb. 13:20, 21; Kub. 7:14.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share