Oli Mwetegefu Okubuulira Embagirawo?
1. Kyakulabirako ki ekiraga nti okubuulira embagirawo kusobola okuvaamu emiganyulo?
1 Okubuulira embagirawo kusobola okuba okw’omuganyulo ennyo. Baibuli erimu ebyokulabirako bingi ebikwata ku kubuulira embagirawo n’ebirungi ebyavaamu. (Yok. 4:7-15) Kiki kye tuyinza okukola okusobola okwetegekera okubuulira okw’engeri eno?
2. Endabika yaffe ennungi eyinza etya okutusobozesa okuwa obujulirwa?
2 Ennyambala n’Okwekolako: Bulijjo bwe tufaayo ku nnyambala yaffe n’engeri gye twekolako kijja kutwanguyira okubuulira abalala obubaka bwaffe. (1 Tim. 2:9, 10) Singa muli tuwulira nti tetwambadde bulungi, tuyinza okutya okuwa obujulirwa. Ate ku luuyi olulala, bwe tuba twambala bulungi, kiyinza okuleetera abalala okwebuuza ensonga lwaki twambala bwe tutyo. Ng’ekyokulabirako, omwami n’omukyala Abajulirwa ba Yakuwa abaali bambadde obulungi nga balina gye balaga, baatula kumpi n’omusajja Omusiraamu. Oluvannyuma lw’okwetegereza endabika yaabwe, omusajja oyo yababuuza obanga Bakristaayo. Kino kyavaamu okukubaganya ebirowoozo ku Baibuli okumalira ddala essaawa ssatu.
3. Ng’okoppa ekyokulabirako kya Yesu, osobodde otya okutandika okwogera n’abantu?
3 Okutandika Okwogera n’Omuntu: Yesu bwe yasisinkana omukyala Omusamaliya ku luzzi lwa Yakobo, yatandika okwogera naye ng’amusaba amuwe ku mazzi ag’okunywa. Mu ngeri y’emu, naffe tuyinza okutandika okunyumya n’omuntu nga tubaako ebigambo ebitonotono bye twogera oba nga tumubuuza ekibuuzo ekyangu. Wadde ng’oluusi tuyinza okulonzalonza okutandika okwogera n’omuntu, bwe twesiga Yakuwa, ajja kutuyamba ‘okufuna obuvumu.’—1 Bas. 2:2.
4. Tuyinza tutya okweteekerateekera okubuulira embagirawo?
4 Weeteekereteekere Okubuulira Embagirawo: Ababuulizi bangi beeteekerateekera okubuulira embagirawo. Lowooza ku mbeera eziyinza okukusobozesa okubuulira embagirawo era n’abantu b’osuubira okusanga ku lunaku olwo. Tambula ne ka Baibuli akatono era n’ebitabo ebituukagana n’abantu abo. Weetegereze bulungi, era faayo ku bantu abakuliraanye. Singa osooka kulowooza ku bantu b’osuubira okusanga ku lunaku olwo, kijja kukusobozesa okuba omwetegefu okuwa obujulirwa.—Baf. 1:12-14; 1 Peet. 3:15.
5. Lwaki tusaanidde okweteekerateekera okubuulira embagirawo?
5 Tulina ensonga bbiri enkulu ezituleetera okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira embagirawo—okwagala Katonda ne muliraanwa. (Mat. 22:37-39) Okuva bwe kiri nti ekiseera kye tulimu kitwetaagisa okunyiikirira omulimu gw’okubuulira, kikulu nnyo okweteekerateekera okubuulira embagirawo. Tusaanidde okuba abeetegefu okukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira abantu amawulire amalungi ag’Obwakabaka ng’ekiseera tekinnaggwayo.—Bar. 10:13, 14; 2 Tim. 4:2.