Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 30
WIIKI ETANDIKA APULI 30
Oluyimba 90 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 15 ¶1-5 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yeremiya 32-34 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. Kozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 6, okulaga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Maayi.
Ddak. 10: Engeri y’Okwanukulamu Abo Abalina Endowooza ez’Enjawulo ku by’Eddiini. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 330, akatundu 4, okutuuka ku lupapula 333, akatundu 2. Laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ng’okozesa agamu ku magezi agaweereddwa.
Ddak. 10: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Ebikolwa 4:1-13, 18-20. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri zino gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Ddak. 5: “Obusente Bubiri obw’Omuwendo Omutono.” Kwogera.
Oluyimba 126 n’Okusaba