Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjuuni 25
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 25
Oluyimba 88 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr Ennyanjula, lup. 6-7 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ezeekyeri 1-5 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. Kozesa magazini ze mwasembayo okufuna mu kibiina kyammwe n’ennyanjula etuukirawo eri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, olage ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandikamu okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Jjulaayi.
Ddak. 15: Kozesa Bulungi Ebiseera Byo ng’Oli mu Buweereza. (Bef. 5:15, 16) Kukubaganya birowoozo ku bibuuzo bino wammanga. (1) Tuyinza tutya okukozesa obulungi ebiseera byaffe nga (a) tukubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira? (b) olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira luwedde? (c) omu ku abo be tubuulira nabo atutte ekiseera kiwanvu ng’ayogera n’omuntu? (d) abantu be tuddiŋŋana tebali mu kitundu kimu? (2) Tuyinza tutya okwewala okwonoona ebiseera (a) bwe tufunira ab’omu maka gaffe eky’okulya, bwe kiba kisoboka, nga tetunnagenda mu lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira? (b) buli omu bw’atuuka mu budde ku lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira? (c) bwe tussaayo omwoyo ng’akubiriza olukuŋŋaana atuwa abo be tugenda okukola nabo ne kitamwetaagisa kuddamu kutugaba ng’olukuŋŋaana luwedde? (d) buli omu bw’ava awali olukuŋŋaana ng’amanyi aw’okutandikira okubuulira?
Ddak. 10: Ebitabo eby’Okugaba mu Jjulaayi. Kukubaganya birowoozo. Nokolayo ebimu ku bitundu ebiri mu bitabo ebinaagabibwa era olage ekyokulabirako kimu oba bibiri.
Oluyimba 29 n’Okusaba