Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 3
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 3
Oluyimba 14 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 23 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Nakkumu 1–Kaabakuuku 3 (Ddak. 10)
Na. 1: Kaabakuuku 2:1-14 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Osaanidde Okubuulira Amazima nga Tolina Kutya Kwonna?—2 Tim. 1:7, 8 (Ddak. 5)
Na. 3: Tusobola Tutya Okufuna Okutegeera n’Amagezi Ebya Nnamaddala—rs-E lup. 288 ¶3–lup. 289 ¶2 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Ddesemba. Kukubaganya birowoozo. Kozesa obutikitiki 30 oba 60 onnyonnyole ensonga lwaki magazini ezo zijja kusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Oluvannyuma, ng’okozesa ebitundu ebisooka mu Watchtower ebikwatagana n’omutwe oguli kungulu, buuza ab’oluganda bibuuzo ki na byawandiikibwa ki bye muyinza okukozesa nga mugaba magazini eyo. Kola kye kimu ne ku Awake! Era obudde bwe bubaawo funayo ekitundu ekirala kimu mu Watchtower oba Awake! okole kye kimu. Laga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi. Kozesa magazini ze mwasembayo okufuna mu kibiina kyammwe. Kebera mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka akalimu ennyanjula za magazini ezo.
Ddak. 10: Ebitabo Byaffe bya Mugaso Nnyo. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2012, olupapula 92, akatundu 1; olupapula 112, akatundu 3; n’olupapula 113. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Ddak. 10: Ebirungi Ebyava mu Kugaba Tulakiti. Kukubaganya birowoozo nga kwa kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Saba abawuliriza boogera ebirungi bye baafuna mu kugaba tulakiti mu Noovemba. Laga ebyokulabirako bibiri ng’ababuulizi balaga engeri gye baagabamu tulakiti nga babuulira nnyumba ku nnyumba.
Oluyimba 96 n’Okusaba