Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 31
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 31
Oluyimba 1 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 27 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Malaki 1-4 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: “Ekitundu Ekipya Ekijja Okufulumiranga mu Omunaala gw’Omukuumi.” Kwogera. Ng’okozesa ennyanjula eri ku lupapula 8 laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Jjanwali. Bwe muba temunnafuna magazini za Jjanwali, nnyonnyola engeri gye muyinza okukozesaamu ekitundu ekipya.
Ddak. 10: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Lukka 10:38-42. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ebiri mu nnyiriri ezo gye biyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Ddak. 10: Ebitabo eby’Okugaba mu Jjanwali ne Febwali. Kukubaganya birowoozo. Yogera ebimu ku bitundu ebiri mu brocuwa ezinaagabibwa ebiyinza okusikiriza abantu mu kitundu kyammwe era olage ebyokulabirako bibiri. Kebera mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba.
Oluyimba 134 n’Okusaba