Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 4
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 4
Oluyimba 99 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 32 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Matayo 22-25 (Ddak. 10)
Na. 1: Matayo 23:25-39 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Abakristaayo Basaanidde Okussaayo Ennyo Omwoyo ku Bunnabbi bwa Bayibuli?—rs-E lup. 297 ¶4-8 (Ddak. 5)
Na. 3: Byakulabirako Ki Ebiri mu Bayibuli Ebiraga nti Kikulu Nnyo Okukolera ku Magezi Agali mu Engero 3:5? (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Febwali. Kukubaganya birowoozo. Mu butikitiki 30 oba 60, nnyonnyola ensonga lwaki magazini ezo zijja kusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Oluvannyuma ng’okozesa ekitundu ekikwatagana n’omutwe oguli ku ngulu ku Omunaala gw’Omukuumi, buuza ab’oluganda bibuuzo ki na byawandiikibwa ki bye muyinza okukozesa nga mugaba magazini eyo. Kola kye kimu ne ku Awake! Era obudde bwe bubaawo funayo ekitundu ekirala kimu mu Omunaala gw’Omukuumi oba Awake! okole kye kimu. Laga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi.
Ddak. 10: Omuntu bw’Akugamba nti, ‘Sikkiririza mu Katonda.’ Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 150, akatundu 3, okutuuka ku nkomerero y’olupapula 151. Laga ekyokulabirako kimu mu bufunze.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Oluyimba 95 n’Okusaba