LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 4/13 lup. 2
  • Akasanduuko K’ebibuuzo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Akasanduuko K’ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
  • Similar Material
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • “Ebiro eby’Okulaba Ennaku”—Tuyinza Tutya Okubyaŋŋanga?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Biki bye nsaanidde okumanya ku kuweereza abalala mesegi?
    Abavubuka Babuuza
  • Ddayo n’Eri Abo Ababa Balaze Okusiima Okutonotono
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
See More
Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
km 4/13 lup. 2

Akasanduuko K’ebibuuzo

◼ Misingi ki egy’omu Bayibuli gye tusaanidde okulowoozaako bwe kituuka ku kukozesa amasimu nga tuli mu nkuŋŋaana oba mu buweereza?

‘Buli Kintu Kiriko Ekiseera Kyakyo.’ (Mub. 3:1): Amasimu gasobozesa abantu okuwuliziganya ekiseera kyonna. Kyokka, waliwo ebiseera Abakristaayo lwe batasaanidde kuleka masimu gaabwe kubataataaganya. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba mu nkuŋŋaana, kiba kiseera kya kusinza Yakuwa, kufuna bulagirizi bwa bya mwoyo, n’okuzziŋŋanamu amaanyi. (Ma. 31:12; Zab. 22:22; Bar. 1:11, 12) Mu kiseera ng’ekyo kiba kirungi okuggyako amasimu gaffe. Bwe kiba nti kikwetaagisa okulekako essimu yo, osaanidde okuggyako eddoboozi lyayo lireme kutaataaganya balala.

‘Kola Ebintu Byonna olw’Amawulire Amalungi.’ (1 Kol. 9:23): Oluusi kiyinza okutwetaagisa okukozesa amasimu nga tuli mu buweereza. Ng’ekyokulabirako, omulabirizi w’ekibinja ayinza okukubirako ababuulizi abali mu kitundu kye babuuliramu asobole okumanya ebibafaako. Oluusi omubuulizi ayinza okukubirako omuntu eyasiima obubaka bwaffe oba omuyizi we owa Bayibuli nga tannaba kugendayo, naddala ng’omuntu oyo abeera wala. Bwe tuba tulina essimu, tusaanidde okwegendereza ereme kututaataaganya nga tulina gwe tubuulira. (2 Kol. 6:3) Bwe kiba nti tulina ababuulizi be tulinda, mu kifo ky’okukubira mikwano gyaffe amasimu oba okubaweereza obubaka, kiba kirungi ebirowoozo byaffe byonna ne tubimalira ku buweereza.

Faayo ku Balala. (1 Kol. 10:24; Baf. 2:4): Tusaanidde okufuba okutuuka mu budde ku lukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira mu kifo ky’okukubiranga bannaffe amasimu batubuulire gye baba bagenze okubuulira. Bwe tutuuka ekikeerezi, ababuulizi baba balina okuddamu okugabibwa. Kyo kituufu nti ebizibu ebiteebeereka oluusi biyinza okutulemesa okutuuka mu budde. Naye bwe tufuba okutuuka mu budde, tuba tulaga nti tussa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa, nti tufaayo ku b’oluganda abakubiriza olukuŋŋaana olwo, era nti tufaayo ne ku babuulizi bannaffe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share