Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 22
WIIKI ETANDIKA APULI 22
Oluyimba 50 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 43 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Lukka 18-21 (Ddak. 10)
Na. 1: Lukka 18:18-34 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ddala Ekiseera Kirituuka Abantu ab’Amawanga Gonna ne Baba Bumu ng’Ab’oluganda?—rs-E lup. 304 ¶5–lup. 305 ¶3 (Ddak. 5)
Na. 3: Obuwombeefu Kye Ki, Tubunoonya Tutya, era Lwaki Kikulu Okubunoonya?—Zef. 2:2, 3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Okuwaayo Lipoota y’Obuweereza. Kitundu kya kubaganya birowoozo nga kya kukubirizibwa omuwandiisi w’ekibiina. Yogera ku ngeri abalabirizi b’ebibinja by’obuweereza gye bayambamu mu kukuŋŋaanya lipoota zaabo abali mu bibinja byabwe. Kozesa ebyo ebiri mu katabo Organized olupapula 85-87. Kiggumize nti kikulu nnyo okuwaayo lipoota entuufu n’okuziwaayo obutayosa.
Ddak. 20: “Engeri y’Okubuuliramu Abasiraamu” Kukubaganya birowoozo. Kiggumize nti kikulu nnyo okuba abeegendereza nga tubuulira omuntu ow’enzikiriza endala. Laga ekyokulabirako kimu ekitegekeddwa obulungi.
Oluyimba 121 n’Okusaba