Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maayi 6
WIIKI ETANDIKA MAAYI 6
Oluyimba 5 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
lr sul. 45 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yokaana 1-4 (Ddak. 10)
Na. 1: Yokaana 3:22-36 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: ‘Okutambulira mu Mwoyo’ Kitegeeza Ki?—Bag. 5:16 (Ddak. 5)
Na. 3: Okufa kwa Yesu Kwawukana Kutya ku kw’Abantu Abalala Abattibwa olw’Enzikiriza Zaabwe?—rs-E lup. 306 ¶1-4 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Maayi. Kukubaganya birowoozo. Mu butikitiki 30 oba 60, nnyonnyola ensonga lwaki magazini ezo zijja kusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Oluvannyuma ng’okozesa ekitundu ekikwatagana n’omutwe oguli ku ngulu ku Omunaala gw’Omukuumi, buuza ab’oluganda kibuuzo ki na kyawandiikibwa ki kye muyinza okukozesa nga mugaba magazini eyo. Kola kye kimu ne ku Awake! Era obudde bwe bubaawo funayo ekitundu ekirala kimu mu Omunaala gw’Omukuumi oba Awake! okole kye kimu. Laga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi. Oyinza okukozesa magazini ze mwasembayo okufuna.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Yakuwa bw’Atazimba Nnyumba, Abagizimba Bakolera Bwereere. (Zab. 127:1) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2013, olupapula 149, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 151, akatundu 1. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Oluyimba 47 n’Okusaba