Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Maayi
“Ffenna tukola ensobi. Wali weebuuzizzaako obanga Katonda asobola okutusonyiwa nga tukoze ekibi eky’amaanyi?” [Muleke abeeko ky’addamu.] Mulage ekitundu ekiri ku lupapula 15 mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 1 mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekisooka, era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
Omunaala gw’Omukuumi Mayi 1
“Twandyagadde okufuna endowooza yo ku kyawandiikibwa kino. [Soma 1 Yokaana 4:8.] Abantu bangi bakkiriza nti ebigambo bino bituufu, naye abalala balowooza nti Katonda mukambwe era nti y’aleeta obutyabaga. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Akatabo kano kalaga ensonga lwaki tetusaanidde kulowooza nti Katonda mukambwe.”
Awake! Maayi
“Tubakyaliddeko nga twogera ku kizibu eky’obumenyi bw’amateeka ekitubobbya omutwe ffenna. Abamu balowooza nti okusobola okumalawo obumenyi bw’amateeka, kyetaagisa okwongera ku muwendo gw’abasirikale ba poliisi. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Obadde okimanyi nti Bayibuli eraga nti obumenyi bw’amateeka bunaatera okukoma? [Soma Zabbuli 37:10, 11.] Akatabo kano kannyonnyola ensonga eyo era kalaga engeri gye tusobola okwekuumamu abamenyi b’amateeka.”