Enkola Empya ez’Okubuulira mu Lujjudde
1. Kyakulabirako ki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka kye baatuteerawo?
1 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka tebaakomanga ku kubuulira nnyumba ku nnyumba, wabula baabuuliranga ne mu lujjudde. (Bik. 20:20) Ng’ekyokulabirako, baagenda mu yeekaalu gye baali basuubira okusanga abantu bangi. (Bik. 5:42) Omutume Pawulo bwe yali mu kibuga Asene, buli lunaku yabuuliranga abantu abaabeeranga mu katale. (Bik. 17:17) Leero, okubuulira nnyumba ku nnyumba y’engeri esinga obukulu ey’okubuulira gye tukozesa. Wadde kiri kityo, tubuulira ne mu lujjudde gamba nga mu bifo awasimbibwa ebidduka, awakolerwa bizineesi, ku nguudo, ne mu bifo ebirala we tusobola okusanga abantu. Ng’oggyeko enkola ezo, ababuulizi bangi bajja kunyumirwa nnyo okukozesa enkola ebbiri empya ez’okubuulira mu lujjudde.
2. Nkola ki ey’okubuulira mu lujjudde eyatandikibwawo mu Noovemba 2011?
2 Mu Bibuga Awayita Abantu Abangi: Nga bwe kiragibwa mu katabo Yearbook aka 2013, olupapula 16 ne 17, waliwo enkola empya ey’okubuulira mu lujjudde eyatandikibwawo mu kibuga New York, mu Noovemba 2011. Ab’oluganda baateeka ebitabo eby’ennimi ezitali zimu n’ebipande ebisikiriza, ku mmeeza ne ku bugaali mu bifo awayita abantu abangi. Buli lunaku abantu nkumi na nkumi nga mw’otwalidde abo abasula mu bizimbe ebikuumibwa n’abo abatatera kubeera waka bayita mu bifo ebyo. Abantu bangi baatwala ebitabo byabwe. Gye buvuddeko, ababuulizi baagaba magazini 3,797 n’ebitabo 7,986, mu mwezi gumu gwokka. Abantu bangi abayita mu bifo ebyo baasaba okuyigirizibwa Bayibuli. Okuva bwe kiri nti essira lyateekebwa ku kutandikirawo okuyigiriza abantu Bayibuli, endagiriro zonna abantu ze baaleka zaaweerezebwa mangu mu bibiina ebibali okumpi basobole okuyigirizibwa Bayibuli.
3. Enkola empya ey’okubuulira mu lujjudde etuuse wa?
3 Olw’okuba enkola eno empya evuddemu ebirungi bingi, kati etandise okukozesebwa ne mu bibuga ebirala mu nsi yonna. Ofiisi y’ettabi ejja kusalawo ebibuga enkola eno mw’ejja okukozesebwa. Ebibuga ebinaalondebwa by’ebyo omuli siteegi z’ebidduka, oba omuli ebizimbe bingi omukolerwa bizineesi, ekiviirako abantu bangi okugenda mu bibuga ebyo. Oluvannyuma, ofiisi y’ettabi ejja kuwandiikira ebibiina ebinaakozesa enkola eno, era ebiweereze n’obulagirizi obulala. Okusingira ddala bapayoniya ab’enjawulo ne bapayoniya aba bulijjo be bajja okukozesebwanga, wadde nga mu bitundu ebimu bapayoniya abawagizi nabo bajja kukozesebwanga.
4. Abo ababuulira mu bibuga awayita abantu abangi bakikola batya?
4 Engeri Gye Kikolebwamu: Bapayoniya abakozesa enkola eyo balinda omuntu n’ajja awali emmeeza oba awali akagaali okuba kuteekeddwa ebitabo. Bamusaba alondeko ekitabo kyonna ky’ayagala. Bw’abuuza ekibuuzo, bakiddamu nga bakozesa Bayibuli. Bw’aba ayagala okutwala ekitabo, bapayoniya tebamubuulira ku bikwata ku nteekateeka y’okuwaayo kyeyagalire. Naye bw’ababuuza engeri gye tufunamu ssente ze tukozesa mu mulimu gwaffe, bayinza okumunnyonnyola nti oyo yenna eyandyagadde okuwaayo, asobola okukozesa endagiriro eziri mu bitabo byaffe. Bayinza okumubuuza nti: “Wandyagadde omuntu akukyalire mukubaganye ebirowoozo ku Bayibuli?” oba “Obadde okimanyi nti tuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere?”
5. Ow’oluganda ne mukyala we abakozesa enkola eno baganyuddwa batya?
5 Abo abeenyigidde mu nkola eno baganyuddwa nnyo. Ow’oluganda omu ne mukyala we baagamba nti: “Okulaba abantu abangi ennyo abayitawo buli lunaku kitukwatako nnyo era kituleetera okulowooza ku mulimu ogw’amaanyi ogukolebwa okusobola okutuusa amawulire amalungi ku bantu mu nsi yonna. Ate era okulowooza ku ngeri Yakuwa gy’afaayo ku buli muntu kitukubiriza okwongera okukulembeza omulimu gw’okubuulira. Tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’akeberamu emitima gy’abantu bonna abayita okumpi n’emmeeza yaffe ng’anoonya abo abagwanira. Tuwulira nga ddala tukolera wamu ne bamalayika.”
6. (a) Nkola ki endala ey’okubuulira mu lujjudde etandikiddwawo mu bibiina bingi, era eyawukana etya ku nkola ey’okubuulira mu bibuga awayita abantu abangi? (b) Ebibiina biyinza bitya okukolaganira awamu nga bibuulira mu lujjudde?
6 Mu Bitundu Byaffe Awayita Abantu Abangi: Ng’oggyeko okubuulira mu bibuga awayita abantu abangi, waliwo enkola endala empya ey’okubuulira mu lujjudde abakadde gye batandiseewo mu bibiina byabwe. Mu nkola eno, ababuulizi bakozesa emmeeza oba akagaali okuli ebitabo mu bifo omuyita abantu abangi ebiri mu kitundu kye babuuliramu. Enkola eno eyawukana ku eyo gye tusoose okwogerako, kubanga mu nkola eyo ey’okubuulira mu bibuga ababuulizi bava mu bibiina eby’enjawulo ne babuulira mu bibuga ebiba birondeddwa ofiisi y’ettabi.—Laba akasanduuko “Kyetaagisa Ebibiina Okukolaganira awamu.”
7. Bwe kiba kituukirawo, abakadde banaateekateeka batya enkola eby’okubuulira mu bifo awayita abantu abangi mu bitundu byabwe?
7 Abakadde bajja kulaba obanga ekitundu kye mubuuliramu kirimu ebifo awayita abantu abangi era basalewo obanga musobola okukozesa enkola eno. Ebifo awayinza okuteekebwa emmeeza oba akagaali okuli ebitabo mwe muli siteegi z’ebidduka, mu bifo abantu we bawummulira, ku nguudo okuyita abantu abangi, mu bifo awali amaduuka amangi, ku matendekero, ku bisaawe by’ennyonyi, n’ebifo awabeera enkuŋŋaana ennene buli mwaka. Kiba kirungi okuteeka emmeeza okuli ebitabo mu kifo kye kimu, ku nnaku ze zimu, era mu biseera bye bimu. Kizuuliddwa nti kyamuganyulo nnyo okuteeka emmeeza okuli ebitabo mu bifo awali amaduuka amangi okusinga okugiteeka mu kifo awali edduuka erimu eddene. Mu bifo ebimu, gamba nga ku nguudo okuyita abantu abangi, kiba kirungi okukozesa akagaali mu kifo ky’emmeeza. Waliwo ebifaananyi eby’Omunaala gw’Omukuumi, Awake!, n’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza eby’okutimba ku kagaali oba ku mmeeza, era abakadde basobola okubiwanula ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti. Ebifaananyi ebyo bya kukozesebwa mu nkola zino zokka. Abo abanaaba balondeddwa bajja kugoberera obulagirizi bwe bumu ng’obwo obugobererwa abo abakozesa enkola ey’okubuulira mu lujjudde mu bibuga awayita abantu abangi. Ate era basaanidde okugoberera obulagirizi obulala bwonna omulabirizi w’obuweereza bw’anaabawa. Bwe bafuna endagiriro y’omuntu eyandyagadde okumanya ebisingawo naye nga tabeera mu kitundu kye babuuliramu, basaanidde okujjuzaamu foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) amangu ddala, ne bagiwa omuwandiisi w’ekibiina kyabwe.
8. Bwe kiba nti mu kitundu kyammwe tekyetaagisa kukozesa enkola empya, muyinza mutya okusigala nga mubuulira mu lujjudde?
8 Okubuulira mu Lujjudde ku Lulwo: Ebibiina ebimu biyinza obutaba na bifo omuyita abantu abangi mu bitundu byabwe ne kiba nti tekibeetaagisa kukozesa nkola ezo. Wadde kiri kityo, ne mu bibiina ng’ebyo ababuulizi bakubirizibwa okukozesa enkola endala ez’okubuulira mu lujjudde. Mu kitundu kyammwe mulimu akatale oba amaduuka? Mulimu ekifo abantu we batera okukuŋŋaanira? Mu kitundu kyammwe mutera okubaamu emikolo? Bwe kiba bwe kityo, okyayinza okubuulira mu lujjudde.
9. Lwaki twandifubye okugenda okubuulira mu kifo kyonna gye tusobola okusanga abantu?
9 Yakuwa ayagala ‘abantu aba buli ngeri balokolebwe era bategeerere ddala amazima.’ (1 Tim. 2:4) Eyo y’ensonga lwaki tufuba okutuusa amawulire g’Obwakabaka ku bantu bangi nga bwe kisoboka ng’enkomerero tennatuuka. (Mat. 24:14) Mu bitundu bingi kizibu okusanga abantu awaka. Kyokka, tusobola okubasanga nga tubuulira mu bifo ebya lukale. Okubuulira mu lujjudde y’eyinza okuba engeri yokka gye tusobola okutuusaamu amawulire amalungi ku bantu ng’abo. N’olwekyo, ka tufube okutuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwaffe nga tubuulira mu kifo kyonna gye tusobola okusanga abantu.—2 Tim. 4:5.
[Akasanduuko akali ku lupapula 5]
Kyetaagisa Ebibiina Okukolaganira Awamu
Kizuuliddwa nti ababuulizi okuva mu bibiina ebiriraanaganye oluusi babuulira mu kifo kye kimu. Ate era, oluusi balekera abantu be bamu ebitabo. Kino kireetedde abantu abamu okwetamwa ne bwe kiba nti ababuulizi bagenzeeyo mu biseera bya njawulo. N’olwekyo bwe muba mubuulira mu lujjudde kiba kirungi ne mubuulira mu kitundu kyammwe mwokka.
Ababuulizi bwe baba baagala okubuulira mu bifo ebya lukale eby’omu kitundu ekibiina ekibaliraanye mwe kibuulira, basaanidde okutegeeza omulabirizi waabwe ow’obuweereza, asobole okufuna olukusa okuva eri omulabirizi w’obuweereza ow’ekibiina ekyo. Bwe kiba nti ebibiina ebikozesa ennimi ez’enjawulo bibuulira mu kitundu kye kimu, abalabirizi b’obuweereza basaanidde okukolaganira awamu ababuulizi baleme kubuulira bantu be bamu. Bwe banaakola bwe batyo, ebintu byonna bijja kukolebwa “mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.”—1 Kol. 14:40.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]