Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 5
WIIKI ETANDIKA AGUSITO 5
Oluyimba 87 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fg Essomo 9, ekibuuzo 1-3 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Abaruumi 1-4 (Ddak. 10)
Na. 1: Abaruumi 3:21–4:8 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ensonga Lwaki Abakristaayo ab’Amazima Beetwala ‘ng’Abagwira era Abatuuze ab’Akaseera Obuseera’ mu Nsi.—1 Peet. 2:11; 1 Yok. 2:15-17 (Ddak. 5)
Na. 3: Bukuumi Ki Abakristaayo ab’Amazima bwe Banaafuna mu Kibonyoobonyo Ekinene?—rs-E lup. 315 ¶3–lup. 316 ¶3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Agusito. Kukubaganya birowoozo. Mu butikitiki 30 oba 60, nnyonnyola ensonga lwaki magazini ze mwasembayo okufuna zijja kusikiriza abantu mu kitundu kyammwe. Oluvannyuma ng’okozesa ekitundu ekikwatagana n’omutwe oguli ku ngulu ku Omunaala gw’Omukuumi, buuza ab’oluganda kibuuzo ki na kyawandiikibwa ki kye muyinza okukozesa nga mugaba magazini eyo. Kola kye kimu ne ku Awake! Era obudde bwe bubaawo funayo ekitundu ekirala kimu mu Omunaala gw’Omukuumi oba Awake! okole kye kimu. Laga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Lukka 5:27-32. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri ezo gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Oluyimba 119 n’Okusaba