Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 4
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 4
Oluyimba 116 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
jl Essomo 3-4 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Tito 1–Firemooni (Ddak. 10)
Na. 1: Tito 2:1-15 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ddala Kyetaagisa Omuntu Okubaako Eddiini gy’Alimu?—rs-E lup. 326 ¶2–lup. 327 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Tetusaanidde ‘Kuwuliriza Ngero ez’Obulimba’—1 Tim. 1:3, 4; 2 Tim. 4:3, 4 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Amagezi Ge Tuyinza Okukozesa Okugaba Magazini mu Ddesemba. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku bibuuzo bino: Bwe tuba tugaba tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38 ku wiikendi, lwaki tusaanidde okugabirako magazini bwe kiba kituukirawo? Ddi lwe kiyinza okuba nga kituukirawo okugabirako magazini? Bwe tuba tuwadde omuntu tulakiti Amawulire g’Obwakabaka, kiki kye tuyinza okwogera okusobola okumuweerako magazini? Laga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu magazini zombi nga tugabirako tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Ekigambo kya Katonda Kya Maanyi. (Beb. 4:12) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2013, olupapula 57, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 59, akatundu 3. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Oluyimba 114 n’Okusaba