Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 16
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 16
Oluyimba 116 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
jl Essomo 20-22 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Okubikkulirwa 1-6 (Ddak. 10)
Na. 1: Okubikkulirwa 3:14–4:8 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Abali mu Ddiini ey’Amazima Bakola Katonda by’Ayagala mu Mbeera Zonna ez’Obulamu Bwabwe—rs-E lup. 329 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Yesu ‘Yateerawo Atya Abayigirizwa Be Ekyokulabirako’ Ekirungi?—Yok. 13:15 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Tutuuse Wa? Kitundu kya kukubaganya birowoozo nga kya kukubirizibwa omulabirizi w’obuweereza. Tegeeza abawuliriza ekibiina kyammwe we kituuse mu kaweefube w’okugaba tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38 era obabuulire enteekateeka ezikoleddwa okusobola okumalako ekitundu kyammwe. Saba abawuliriza boogere ebirungi bye bafunye mu kaweefube ono.
Ddak. 10: Abavubuka Batendereze Yakuwa. (Zab. 148:12, 13) Buuza ebibuuzo omuvubuka omu assaawo ekyokulabirako ekirungi. Kusoomoozebwa ki kw’ayolekagana nakwo ku ssomero? Bazadde be n’abalala mu kibiina bamuyambye batya okwaŋŋanga okusoomoozebwa okwo? Kiki ekimuyambye okufuna obuvumu okubuulira abalala ku bikwata ku nzikiriza ye? Fundikira ng’okubiriza abavubuka okweteekerateekera omwaka omupya ogw’okusoma era obabuulire n’okusoomoozebwa kwe bayinza okwolekagana nakwo.
Ddak. 10: “Akatabo Funa Enkolagana Kajja Kusomebwa Okuva mu Jjanwali.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 75 n’Okusaba