Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 23
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 23
Oluyimba 127 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
jl Essomo 23-25 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Okubikkulirwa 7-14 (Ddak. 10)
Na. 1: Okubikkulirwa 9:1-21 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Engeri Abakristaayo ab’Amazima Gye Boolekamu Empisa ey’Okusembeza Abagenyi—Beb. 13:2 (Ddak. 5)
Na. 3: Abali mu Ddiini ey’Amazima Baagalana era Si ba Nsi—rs-E lup. 329 ¶3-4 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Eby’Okugaba mu Jjanwali ne Febwali. Kukubaganya birowoozo. Yogera ku ebyo ebiri mu zimu ku brocuwa ezinaagabibwa mu Jjanwali ne mu Febwali, era olage ebyokulabirako bibiri.
Ddak. 20: “Okuyamba Abo Abayinza Obutakkiriza Katabo Baibuli ky’Eyigiriza.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Laga ekyokulabirako kimu ng’okozesa agamu ku magezi agaweereddwa ku lupapula 6.
Oluyimba 46 n’Okusaba