Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Apuli 28
WIIKI ETANDIKA APULI 28
Oluyimba 35 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 6 ¶9-15 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Okuva 19-22 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Fuba Okufuna Omuyizi wa Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka. Kwogera. Babuulire enteekateeka ey’okubuulira ku Lwomukaaga olusooka mu Maayi ekoleddwa mu kibiina kyammwe, era bakubirize okujjumbira enteekateeka eyo. Mu bufunze laga ekyokulabirako ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 8.
Ddak. 15: “Tulakiti Zaffe Empya Zisikiriza!” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Laga ebyokulabirako bibiri. Mu kisooka, omubuulizi agaba tulakiti empya ng’abuulira nnyumba ku nnyumba, ate mu ky’okubiri ng’omubuulizi y’omu azzeeyo eri omuntu gwe yalekera tulakiti bongere okukubaganya ebirowoozo.
Ddak. 10: “Vidiyo Empya Eneetuyamba Okufuna Abayizi ba Bayibuli.” Kwogera. Balage vidiyo eyo oba bateereko amaloboozi gaayo bawulirize. Saba abawuliriza boogere engeri endala gye muyinza okukozesaamu vidiyo eyo. Bwe muba temusobola kufuna vidiyo eyo, laga ekyokulabirako ku ngeri gye muyinza okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli nga mukozesa brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda! oba brocuwa endala yonna gye mulina mu kibiina kyammwe gye mukozesa okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli.
Oluyimba 75 n’Okusaba