1914-2014 Emyaka Kikumi ng’Obwakabaka Bufuga!
Mu 1922, ow’oluganda J.F. Rutherford yagamba nti: “Mulabe, Kabaka afuga! . . . Mulangirire Kabaka n’obwakabaka bwe.” N’okutuusa leero tukyalangirira Obwakabaka bwa Katonda wadde nga gigenda kuwera emyaka 100 bukya butandika okufuga. Bwe tunaafuba okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Bwakabaka obwo nga bakozesa omukutu gwaffe ogwa Intaneeti, omwezi gwa Agusito gujja kufuuka gwa byafaayo!