Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 8
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 8
Oluyimba 133 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 12 ¶16-21, akas. ku lup. 127 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Okubala 22-25 (Ddak. 10)
Na. 1: Okubala 22:36–23:10 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Sitaani Si Ye Ndowooza Embi Eri mu Bantu—rs-E lup. 362 ¶3–lup. 363 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Olutalo lwa Kalumagedoni Lwoleka Okwagala kwa Katonda—td 15B (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 15: Yoleka Empisa Ennungi ng’Oli mu Buweereza. (2 Kol. 6:3) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku bibuuzo bino: (1) Lwaki kikulu okwoleka empisa ennungi nga tuli mu buweereza? (2) Tuyinza tutya okwoleka empisa ennungi (a) ng’ekibinja kyaffe kituuse mu kitundu kye tugenda okubuuliramu? (b) nga tuva ku nnyumba emu okugenda ku ndala? (c) nga tuyimiridde ku mulyango gw’omuntu? (d) nga gwe tuli naye alina gw’abuulira? (e) nga gwe tubuulira awa endowooza ye? (f) nga gwe tusanze awaka alina eby’okukola bingi oba ng’embeera y’obudde mbi? (g) nga gwe tusanze awaka atukambuwalidde?
Ddak. 15: “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okulekawo Kye Munaayogerako ng’Ozzeeyo.” Kukubaganya birowoozo. Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi yeewuunaganya: yeeteekateeka okugenda okubuulira era alowooza ku kibuuzo ky’anaalekera omuntu anaaba akkirizza magazini.
Oluyimba 68 n’Okusaba