Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Okitobba 27
WIIKI ETANDIKA OKITOBBA 27
Oluyimba 5 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 15 ¶1-10 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ekyamateeka 11-13 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: “Buuliranga ekigambo, kibuulire n’obunyiikivu.”—2 Tim. 4:2
Ddak. 15: “Ebinaatuyamba Okubuulira n’Obunyiikivu.” Kukubaganya birowoozo. Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi agaba akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza oba tulakiti.
Ddak. 15: Weeteeketeeke Bulungi Osobole Okubuulira n’Obunyiikivu. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2014, olupapula 14-15, akatundu 14-20. Saba ababuulizi boogere ku bintu ebyeraliikiriza abantu mu kitundu kye mubuuliramu. Muyinza mutya okuyamba abantu abo? Laga ekyokulabirako nga bapayoniya babiri oba ng’ow’oluganda ne mukyala we bakozesa amagezi gano okuteekateeka ennyanjula etuukirawo mu kitundu kye mubuuliramu. Bayinza okwerondera ekitabo kye banaagaba.
Oluyimba 95 n’Okusaba