Okwejjukanya
Ebibuuzo bino wammanga bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Okitobba 27, 2014.
Lwaki Abaisiraeri beemulugunya ku Katonda ne ku Musa nga bwe kiragibwa mu Okubala 21:5, era ekyo kituyigiriza ki? [Seb. 1, w99-E 8/15 lup. 26-27]
Lwaki Yakuwa yasunguwalira Balamu? (Kubal. 22:20-22) [Seb. 8, w04 8/1 lup. 32 kat. 1]
Ebiri mu Okubala 25:11 bituyigiriza ki ku Finekaasi, era tuyinza tutya okumukoppa? [Seb. 8, w04 8/1 lup. 32 kat. 3]
Biki ebiraga nti Musa yali muwombeefu, era kiki kye tumuyigirako? (Kubal. 27:5, 15-18) [Seb. 15, w13 2/1 lup. 5]
Yoswa ne Kalebu baakiraga batya nti abantu abatatuukiridde basobola okunywerera ku Katonda ne bwe baba nga baziyizibwa? (Kubal. 32:12) [Seb. 22, w93-E 11/15 lup. 14 kat. 13]
Ku bikwata ku bufumbo, kiki Omukristaayo ali obwannamunigina ky’ayinza okuyigira ku bawala ba Zerofekaadi abaali abawulize? (Kubal. 36:10-12) [Seb. 29, w08 2/15 lup. 4-5 kat. 10]
Abaisiraeri bwe beemulugunya era ne boogera bubi ku Yakuwa kiki ekyavaamu, era ekyo kituyigiriza ki? (Ma. 1:26-28, 34, 35) [Okit. 6, w13 8/15 lup. 11 kat. 7]
Bintu ki ebibiri Abaisiraeri bye baalina okukola okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa n’okuba obulungi nga bali mu Nsi Ensuubize? (Ma. 4:9) [Okit. 13, w06 6/1 lup. 27 kat. 15]
Lwaki ebyambalo by’Abaisiraeri tebyakaddiwa era n’ebigere byabwe tebyazimba nga batambula mu ddungu? (Ma. 8:3, 4) [Okit. 20, w04 10/1 lup. 9-10 kat. 9]
Tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira okwaweebwa Abaisiraeri okugamba nti ‘munywerere’ ku Yakuwa? (Ma. 13:4, 6-9) [Okit. 27, w02 11/1 lup. 16 kat. 14]