Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 26
WIIKI ETANDIKA JJANWALI 26
Oluyimba 99 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 19 ¶9-17 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Ekyabalamuzi 5-7 (Ddak. 8)
Na. 1: Ekyabalamuzi 7:12-25 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Okubatizibwa Tekunaazaako Bibi—td-22B (Ddak. 5)
Na. 3: Biki Ebisobola Okutuyamba Okuyiga Ebikwata ku Yakuwa—nwt-E lup. 9 ¶1-4 (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Weereza Mukama waffe n’obuwombeefu.’—Bik. 20:19.
Ddak. 10: Eby’Okugaba mu Jjanwali ne Febwali. Kukubaganya birowoozo. Saba ababuulizi boogere ku birungi bye bafunye mu kugaba brocuwa Amawulire Amalungi. Mu bufunze, laga ekyokulabirako ng’omubuulizi agaba brocuwa eyo. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kitundu ekirina omutwe, “Tetusaanidde Kulwawo.”
Ddak. 10: Abakadde Abaweereza Mukama Waffe—Akubiriza Omunaala gw’Omukuumi. Buuza ow’oluganda akubiriza Omunaala gw’Omukuumi ebibuuzo bino wammanga: Obuvunaanyizibwa bwo buzingiramu ki? Weeteekerateekera otya olukuŋŋaana lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi? Lwaki oluusi tolonda buli aba awanise omukono ng’ayagala okubaako ky’addamu? Asoma obutundu, abo abaddamu ebibuuzo, n’ab’oluganda abatambuza obuzindaalo bayinza batya okuyamba ekibiina okuganyulwa mu lukuŋŋaana lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi? Essomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka lye wasembayo okugendamu likuyambye litya okweyongera okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwo?
Ddak. 10: “Kozesa Omukutu jw.org ng’Obuulira—Beera Mukwano gwa Yakuwa.” Kukubaganya birowoozo. Yogera ebimu ku ebyo ebiri mu kitundu “Become Jehovah’s Friend” ekiri ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti era oteereko abawuliriza akamu ku buvidiyo obuli mu kitundu ekyo. Saba abawuliriza boogere engeri gye tuyinza okukozesaamu ebyo ebiri mu kitundu ekyo nga tubuulira nnyumba ku nnyumba, mu bifo ebya lukale, oba embagirawo.
Oluyimba 135 n’Okusaba