Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okufuna Omuntu ow’Okuwa Magazini Buli Mwezi
Lwaki Kikulu: Abantu bangi banyumirwa nnyo okusoma magazini zaffe naye tebaagala kubayigiriza Bayibuli. Bayinza okuba nga tebaagala kukyusa ddiini yaabwe, oba nga tebalina biseera bya kuyiga Bayibuli. Kyokka, bwe basoma magazini zaffe buli mwezi bayinza okutandika okwagala Ekigambo kya Katonda. (1 Peet. 2:2) Bayinza okusoma ekitundu ne kibakwatako, oba embeera zaabwe ziyinza okukyuka. Bwe tubakyalira obutayosa ne tukubaganya nabo ebirowoozo okumala akaseera katono, bafuuka mikwano gyaffe era tweyongera okumanya bye baagala n’ebibeeraliikiriza. Oluvannyuma lw’ekiseera bayinza okufuuka abayizi ba Bayibuli.
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Kola olukalala lw’abo b’oyinza okutwalira magazini buli mwezi. Bawe magazini empya, era obagambe nti ojja kubaleetera n’ezinaddako.