Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Agusito 10
WIIKI ETANDIKA AGUSITO 10
Oluyimba 61 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 28 ¶18-21, akas. ku lup. 289 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 1 Bassekabaka 21-22 (Ddak. 8)
Na. 1: 1 Bassekabaka 22:13-23 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Oyinza Otya Okusemberera Katonda?—nwt-E lup. 32 ¶1-4 (Ddak. 5)
Na. 3: Omwami Tasaanidde Kukkiriza Mukyala We Kumulemesa Kuweereza Katonda— td-32C (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Nze n’ennyumba yange, tunaaweerezanga Yakuwa.’—Yos. 24:15.
Ddak. 10: “‘Nze n’Ennyumba Yange, Tunaaweerezanga Yakuwa.’” Kwogera nga kwesigamiziddwa ku mulamwa gw’omwezi guno. Soma Ekyamateeka 6:6, 7; Yoswa 24:15; ne Engero 22:6, era olage engeri abawuliriza gye bayinza okubikolerako. Kiggumize nti mu maka abaami ne bataata balina okuwoma omutwe mu by’omwoyo. Yogera ebintu ebitali bimu omuddu omwesigwa by’atuwadde ebisobola okuyamba amaka. Yogera ebimu ku bitundu ebiri mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza omwezi guno, era olage engeri gye bikwataganamu n’omulamwa gw’omwezi.
Ddak. 20: “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutendeka Ababuulizi Abapya.” Kukubaganya birowoozo. Buuza abawuliriza engeri abazadde gye basobola okukolera ku magezi agali mu kitundu kino nga bayamba abaana baabwe okukulaakulana mu by’omwoyo. Laga ekyokulabirako nga taata ategekera wamu ne mutabani we oba muwala we omuto ennyanjula gye banaakozesa nga babuulira.
Oluyimba 93 n’Okusaba