Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Omunaala gw’Omukuumi Ssebutemba 1
“Omanyi ensonga lwaki tuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa? [Muleke abeeko ky’addamu.] Eky’okuddamu kiri wano mu Bayibuli, Katonda w’atutegeereza erinnya lye. [Soma Zabbuli 83:18.] Olw’okuba tuli Bajulirwa Ba Yakuwa, tubuulira abantu amawulire amalungi agamukwatako n’ekigendererwa kye eri abantu. Akatabo kano kannyonnyola ebitukwatako.”
Awake! Ssebutemba
“Ffenna twetaaga ssente okusobola okwetuusaako ebyetaago byaffe. Naye olowooza kikyamu okwagala ennyo ssente? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze okulabula kuno okuli mu Bayibuli. [Soma 1 Timoseewo 6:9.] Akatabo kano kalaga ensonga lwaki tusaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente.”