Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 30
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 30
Oluyimba 94 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
ia sul. 3 ¶14-21, akas. ku lup. 30, eby’okulowoozaako ku lup. 32 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Ebyomumirembe 6-9 (Ddak. 8)
Na. 1: 2 Ebyomumirembe 6:22-27 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Kikulu Okwewala Ebikolwa eby’Obuseegu? (Ddak. 5)
Na. 3: Lwaki Kikulu Okwewala Obusamize Obwa Buli Ngeri?—td-38C (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: “Nze nnasiga, Apolo n’afukirira, naye Katonda ye yakuza.”—1 Kol. 3:6.
Ddak. 10: Okugaba Magazini mu Ddesemba. Kukubaganya birowoozo. Sooka olage ebyokulabirako bibiri ng’okozesa ennyanjula eziweereddwa. Oluvannyuma mwogere ku buli emu ku nnyanjula ezo.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 10: Twakola Tutyar? Kukubaganya birowoozo. Saba abawuliriza boogere engeri gye baganyuddwa mu kukolera ku magezi agaaweebwa mu kitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okugaba Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.” Basabe boogere ebirungi ebyavaamu.
Oluyimba 141 n’Okusaba
Mujjukizibwa okussaako oluyimba olupya ab’oluganda baluwulirize omulundi gumu, oluvannyuma muyimbire wamu.