Ssebutemba 26–Okitobba 2
ZABBULI 142-150
Oluyimba 134 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yakuwa Mukulu era y’Agwanidde Okutenderezebwa Ennyo”: (Ddak. 10)
Zb 145:1-9—Ekitiibwa kya Yakuwa tekiriiko kkomo (w04 2/1 3 ¶3-4; 4 ¶7-8; 7 ¶20-21; 8 ¶2)
Zb 145:10-13—Abeesigwa eri Yakuwa bamutendereza (w04 2/1 9 ¶3-6)
Zb 145:14-16—Yakuwa ayamba era awanirira abo abeesigwa gy’ali (w04 2/1 10-11 ¶10-14)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Zb 143:8—Olunyiriri luno lutuyamba lutya okukola ebyo ebiweesa Yakuwa ekitiibwa buli lunaku? (w10 1/15 21 ¶1-2)
Zb 150:6—Olunyiriri olusembayo mu kitabo kya Zzabuli luggumiza nsonga ki enkulu? (it-2-E 448)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kunjigiriza ki ku Yakuwa?
Biki bye njize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno bye nsobola okukozesa mu buweereza?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Zb 145:1-21
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) 1Pe 5:7—Yigiriza Amazima.
Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) Zb 37:9-11—Yigiriza Amazima.
Ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) fg essomo 9 ¶3—Yamba omuyizi okulaba engeri gy’ayinza okussa mu nkola ebyo by’ayize.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukubiriza Abantu Okujja mu Nkuŋŋaana”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Buli omu muwe akapapula akayita abantu mu nkuŋŋaana, era mu bufunze oyogere ku ebyo ebiri ku lupapula 2. Mulabe vidiyo eraga ng’omubuulizi ayita omuntu gw’atera okutwalira magazini okujja mu nkuŋŋaana. Ng’ofundikira, yogera ku ebyo ebiri mu kasanduuko akalina omutwe, “Eky’Okugaba mu Okitobba: Akapapula Akayita Abantu mu Nkuŋŋaana.”
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv sul. 1 ¶10-18, akas. ku lup. 13
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 145 n’Okusaba
Mujjukizibwa okussaako oluyimba luno ab’oluganda baluwulirize omulundi gumu, oluvannyuma muyimbire wamu.