EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ISAAYA 47-51
Okugondera Yakuwa Kivaamu Ebirungi
Yakuwa atulaga ‘ekkubo lye tusaanidde okutambuliramu’ tusobole okunyumirwa obulamu. Bwe tumugondera ffe abaganyulwa
‘Emirembe egiringa omugga’
Yakuwa asuubiza okutuwa emirembe mingi nga giri ng’omugga ogukulukuta
‘Obutuukirivu obuli ng’amayengo g’ennyanja’
Bwe tugondera Yakuwa, eby’obutuukirivu bye tukola bisobola okuba ebingi ng’amayengo g’ennyanja