OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Engeri Gye Tusaanidde Okweyisaamu nga Tutuuse ku Mulyango gw’Omuntu
Abakristaayo tuli ‘kyerolerwa eri ensi.’ (1Ko 4:9) N’olwekyo, tekyanditwewunyisizza nti bwe tuba tubuulira, abantu abamu batulingiririza mu madirisa oba bagaana okutuggulirawo enzigi zaabwe. Amayumba agamu galiko ne kamera mwe basobola okutulabira, oba obuzindaalo obubasobozesa okuwulira bye twogera n’okubikwata ku butambi. Ka tulabe engeri gye tusaanidde okweyisaamu nga tutuuse ku mulyango gw’omuntu.—2Ko 6:3.
WEEGENDEREZE BY’OKOLA (Baf 1:27):
Tolingiza mu nnyumba ya muntu. Ate era si kirungi kuliirawo, kunywerawo, kukubirawo ssimu oba kuweereza mesegi
WEEGENDEREZE BY’OYOGERA (Bef 4:29):
Toyogera kintu kyonna ky’otandyagadde nnannyini nnyumba kuwulira. Ababuulizi abamu basalawo n’okulekera awo okunyumya nga batuuse ku nnyumba y’omuntu, basobole okulowooza ku bye bagenda okwogera