LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb19 Agusito lup. 5
  • Abavubuka—‘Munyiikirire Ebikolwa Ebirungi’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abavubuka—‘Munyiikirire Ebikolwa Ebirungi’
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Similar Material
  • Tendereza Yakuwa ng’Oweereza nga Payoniya
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Emikisa Egiva mu Kuweereza nga Payoniya
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Okuweereza nga Bapayoniya Kinyweza Enkolagana Yaffe ne Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Payoniya y’Ani?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
mwb19 Agusito lup. 5

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abavubuka​—‘Munyiikirire Ebikolwa Ebirungi’

Mu bbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira Tito, yalaga nti abavubuka nga mw’otwalidde ne Tito balina okufuba okussaawo “ekyokulabirako ekirungi mu kukola ebikolwa ebirungi mu buli kintu.” (Tit 2:6, 7) Ate era yalaga nti abantu ba Yakuwa balongoosebwa basobole okubeera abantu “abanyiikirira ebikolwa ebirungi.” (Tit 2:14) Ekimu ku bikolwa ebyo ebirungi kwe kubuulira ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Bw’oba oli muvubuka, osobola okuweereza nga payoniya omuwagizi oba nga payoniya owa bulijjo?​—Nge 20:29.

Bw’oba oyagala kuweereza nga payoniya, kola enteekateeka ezinaakusobozesa okutuuka ku kiruubirirwa kyo. (Luk 14:28-30) Ng’ekyokulabirako, onoosobola otya okweyimirizaawo? Onoosobola otya okutuukiriza essaawa bapayoniya ze balina okuwaayo? Saba Yakuwa akuyambe. (Zb 37:5) Buulirako bazadde bo oba abo abaweereza nga payoniya ku nteekateeka z’olina. Oluvannyuma fuba okutuuka ku kiruubirirwa kyo. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ajja kukuwa emikisa ng’ofuba okumuweereza!

MULABE VIDIYO, ABAVUBUKA ABAWEESA YAKUWA EKITIIBWA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Kusoomooza ki ab’oluganda abamu kwe baalina okuvvuunuka okusobola okuweereza nga bapayoniya, era baakuvvuunuka batya?

  • Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okusobola okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo?

  • Lwaki kikulu okuba n’enteekateeka ey’okubuulira?

  • Ab’oluganda mu kibiina bayinza batya okuyamba payoniya n’okumuzzaamu amaanyi?

  • Mikisa ki abo abaweereza nga bapayoniya gye bafuna?

Mwannyinaffe omuvubuka ayogera ne taata we ku ky’okuweereza nga payoniya; payoniya omuvubuka awandiika enteekateeka ye; payoniya omuvubuka abuulira ne mwannyinaffe omulala; payoniya omuvubuka ayinza omuntu Bayibuli

Nnyinza ntya okutuuka ku kiruubirirwa eky’okuweereza nga payoniya?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share