Ssebutemba 2-8
ABEBBULANIYA 7-8
Oluyimba 16 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Kabona Emirembe Gyonna nga Merukizeddeeki”: (Ddak. 10)
Beb 7:1, 2—Merukizeddeeki eyali kabaka era kabona yasisinkana Ibulayimu era n’amuwa omukisa (it-2-E lup. 366)
Beb 7:3—Merukizeddeeki teyalina ‘lunyiriri lwa buzaale’ era “asigala nga kabona emirembe n’emirembe” (it-2-E lup. 367 ¶4)
Beb 7:17—Yesu “kabona emirembe gyonna nga Merukizeddeeki” (it-2-E lup. 366)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Beb 8:3—Njawulo ki eyaliwo wakati w’ebirabo ne ssaddaaka kabona bye yawangayo mu Isirayiri? (w00 9/1 lup. 8 ¶11)
Beb 8:13—Mu ngeri ki endagaano y’Amateeka gye ‘yadibizibwa’ mu biseera bya Yeremiya? (it-1-E lup. 523 ¶5)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Beb 7:1-17 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza: (Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Okukozesa Ebintu Ebirabwako, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ssomo 9 erya brocuwa Okuyigiriza.
Okwogera: (Ddak. 5 oba obutawera) it-1-E lup. 524 ¶3-5—Omutwe: Endagaano Empya Kye Ki? (th essomo 7)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ebikolebwa Ekibiina: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo, Ebikolebwa Ekibiina eya Ssebutemba. Bakubirize okugenda okulambula ekitebe kyaffe ekikulu oba ofiisi y’ettabi ey’omu nsi yaabwe bwe kiba nga kisoboka.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 82
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 83 n’Okusaba