Ogw’Okusoma
JJANWALI 2020
EBITUNDU EBY’OKUSOMA OKUVA NGA: MAAKI 2–APULI 5, 2020
© 2019 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
EKYAWANDIIKIBWA KY’OMWAKA 2020:
“Mugende mufuule abantu . . . abayigirizwa, nga mubabatiza.”—MAT. 28:19.
Akatabo kano tekatundibwa. Ke kamu ku ebyo ebikozesebwa mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Bayibuli mu nsi yonna. Ssente ezikozesebwa mu mulimu guno ziweebwayo kyeyagalire. Bw’oba oyagala okubaako ky’owaayo, genda ku donate.jw.org.
Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa mu katabo kano biggiddwa mu Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Enkyusa ya Bayibuli endala bw’eba ejuliziddwa, kijja kulagibwa.
KIFAANANYI KU DDIBA:
Yesu bwe yasisinkana abatume be awamu n’abayigirizwa be abalala e Ggaliraaya oluvannyuma lw’okuzuukira, yabagamba okugenda ‘okufuula abantu abayigirizwa’ (Laba ekitundu eky’okusoma 1, akatundu 3-4)