Ebiri ku JW Library ne ku JW.ORG
EBYOKULABIRAKO EBIKWATA KU BAJULIRWA BA YAKUWA
Twasalawo Obutaba na Bintu Bingi
Madián ne Marcela baakizuula nti okumala gagula buli kintu kye basanze n’okuba n’ebbanja eddene kyabamalako essanyu. Naye okuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda kyabaleetera essanyu erya nnamaddala.
EBIRALA
Obutyabaga—Bayibuli Esobola Okukuyamba Okubwaŋŋanga?
Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okukuyamba ng’akatyabaga tekannagwawo, nga kaguddewo, n’oluvannyuma nga kawedde.
AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA
Nga tebannasalawo kutwala baana baabwe mu bifo ebyo, abazadde basaanidde okufumiitiriza ku birungi n’ebibi ebikirimu. Ebibuuzo ebiri mu kitundu kino bisobola okukuyamba okusalawo mu ngeri eneeganyula omwana wo.