Katonda Akufaako
BAYIBULI erimu obulagirizi obusingayo obulungi. Ekyo kiri kityo kubanga yava eri Katonda. Bayibuli si kitabo kya bya bujjanjabi, naye amagezi agagirimu gasobola okutuyamba nga twolekagana n’embeera enzibu, nga tutawaanyizibwa mu birowoozo, nga tulumizibwa mu nneewulira, oba nga tulumizibwa mu mubiri.
N’ekisinga obukulu, Bayibuli eraga nti, Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda,a ategeera bulungi ebirowoozo byaffe n’enneewulira yaffe okusinga omuntu yenna. Mwetegefu okutuyamba nga twolekagana n’ekizibu kyonna. Ng’ekyokulabirako, fumiitiriza ku byawandiikibwa bino bibiri okuva mu Bayibuli:
Yakuwa “awonya abamenyese mutima;asiba ebiwundu byabwe.”—ZABBULI 147:3.
“Nze Yakuwa Katonda wo, nkwata omukono gwo ogwa ddyo, nze nkugamba nti, ‘Totya. Nja kukuyamba.’”—ISAAYA 41:13.
Naye Yakuwa atuyamba atya nga tulina obulwadde obukosa ebirowoozo? Nga bwe tugenda okulaba mu bitundu ebiddako, Yakuwa akiraze nti atufaako mu ngeri nnyingi.
a Yakuwa linnya lya Katonda.—Zabbuli 83:18.